Tuesday, November 10, 2020

Bobi okuwenja akalulu akutandikidde mu ggiya

Bobi okuwenja akalulu akutandikidde mu ggiya

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwanga Bobi Wine, yavudde e Kampala mu maanyi okutandika kampeyini ez'Obwapulezidenti mu kibuga Arua gye yafunira ebinuubule mu August 2019.

Yasimbudde okuva ku kitebe kya National Unity Platform (NUP e Kamwokya mu ttuntu n'agenda ng'awuubira abawagizi abaakwatiridde ku nguudo mu bubuga obw'enjawulo, okuviira ddala e Bwaise, Kawempe, Maganjo, Matugga, Bombo, Luweero okutuukira ddala ku bbibiro e Karuma we yawetedde n'ayita mu kkuumiro ly'ebisolo erya Murchson Bay n'agguka e Pakwach gye yatuuse ng'obudde buzibidde ddala.

Mu bubuga obumu abawagizi abaabadde bawanise ebipande bye ne langi emmyuufu eza NUP bakira bamuyiira ssente bamu ne bamutonera ssappule era olwazifunye ng'azambalirawo n'okukuba akabonero k'omusaalaba. Ng'atuuse mu Wobulenzi Town Council, yatambudde n'abeesimbyewo ku kaadi ya NUP era abamu baalinnye ku mmotoka ye n'abakwata emikono n'agiwanika nga bagenda bawuubira abantu.

Ebirabo bye baamutonedde mwabaddemu ennanaansi, emiyembe era naye yabadde ayimiridde mu mmotoka embikkule waggulu ng'agenda awaga era n'emmotoka obwedda z'ayitako mu kkubo ng'abazirimu bawaga n'okumulaga obuwagizi mu ngeri ez'enjawulo. Ttiyaggaasi yatandise okunyooka ng'atuuse e Luweero abantu bwe baakuhhaanidde ku nguudo okumwaniriza.

Abaserikale abaabadde batambulira ku kabangali abaabadde bawondera mmotoka Bobi ne banne mwe baabadde batambulira be baakubye mu bantu ttiyaggaasi olwo ne basaasaana. Buli obwedda bwe baddirizza ng'abantu baddamu nga bakuh− haana okutuusa lwe yamazeeko Luweero n'ayolekera disitulikiti y'e Nakasongola.

Wabula bwe yabadde tannaba kusimbula kugenda Pakwachi, Nebbi ne Arua yasoose kutuuza lukuhhaana lw'abaamawulire n'ategeeza nti asookedde mu Arua abakakase nti akyali nabo okuva ku bulumbaganyi obwamukolebwako ng'anoonya akalulu ka Kasiano Wadiri nga kino tekyamuggya ku mulamwa.

Yakiggumizza nti ekitatta muyimba tekimumalaako nte nze era embeera yonna enzibu bw'etuuka ku muntu naye nga tesobodde kumutta, eyongera kumufuula mugumu ng'ejjinja bwatyo naye ebyamutuukako byamwongera kuguma. Olw'embeera eyo, yagambye nti Katonda awadde Museveni obubonero bungi nga bwe yawa falaawo e Misiri nga bw'ayogerwako mu bbayibuli okuli enzige n'ebirwadde ebikambwe naye agaanye okuva mu buyinza kati abaweerezza Josha (Bobi Wine) abakulembere okutuuka mu Uganda empya.

Olwamalirizza ebyo n'abagamba nti "nsaba mbategeeze nti kati tusimbudde" wano webaatandikidde okulinnya emmotoka ne zisimbula nga boolekera Arua. Yagambye nti abeebyokwerinda babadde bafuba okulaba nga babalemesa okutuuka ku bantu kubanga bakimanyi nti babafaanana era batya abantu okumanya nti abeesimbyewo bamyaka gyabwe.

"Baali balowooza nti bwe bagamba kampeyini za ssaayansi babeera batulemesezza kyokka ekibi baagwa mu muzannyo gwe batamanyi," Kyagulanyi bwe yaweze n'asaba buli muntu awulidde ky'ayogera akituuse ku munne kubanga guno omulembe gwabwe. Mbasaba tubatandike kati tugende okutuuka okulonda nga baagala okuggyako ‘social media' ng'abantu bamaze okubuuka.

Bano Abantu njagala tubatamye kampeyini za ssaayansi zeboogerako. Essaawa zaagenze okuwera 10:00 ez'olw'eggulo nga lw'atuuka e Luweero. Omwogezi wa NUP, Joel Ssennyonyi eyasoose okwogera yasabye akakiiko k'ebyokulonda katwale obuvunaanyizibwa bwako kakakase nti ebitongole by'ebyokwerinda tebijja kubataataaganya ebisago bye baafunye nga bava okwewandiisa byebibeera bisemba.

Twagala enkyukakyuka era ebeere ng'ejja mu mirembe, tetwagala mbeera eteekawo baana n'ebyana.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts