Tuesday, November 10, 2020

Museveni by'asuubizza ab'e Luweero

Museveni by'asuubizza ab'e Luweero

PULEZIDENTI Museveni asabye Bannayuganda baddemu bamulonde ku Bwapulezidenti bw'eggwanga kuba b'avuganya nabo bakyakayiga mu byobufuzi abateetaaga kukwasa buyinza.

Yabyogeredde ku Kawumu Demonstration Farm e Luweero gye yatongolezza kampeyini z'okumuzza ku Bwapulezidenti eggulo. "Nneewuunya abakulembeze abatamanyi kye boogerako nga basuubiza okukendeeza emisolo ate mu kiseera kye kimu bongeze emisaala gy'abakozi.

Bano beetaaga kusooka kuyigiriza bamanye eky'okukola," Museveni bwe yagambye. Yagambye nti eggwanga aliggye wala kuba lyalimu enfuga embi,  obusosoze, obukyayi n'obutamanya. E Kawumu, we yatongolezza kampeyini, we yasinziira okwawulamu ebibinja, ekimu ne kisigalawo ate ekirala n'akisindika mu bitundu by'e Rwenzori. Yagambye nti okuva lwe yajja mu buyinza asobodde okugatta Bannayuganda ne bava mu byobufuzi.

by'okulowooleza mu mawanga n'amadiini. Kino kiyambye ebyenfuna okukula olw'emisolo egyeyongedde eggwanga lisobola okwekolera ku byokwerinda, ebyobulamu n'ebyetaago ebirala. Pulezidenti yonna gye yayise abantu baamulaze essanyu bwe baamulindiridde ku makubo mu bitundu ebiwerako naddala e Matugga, Jjagala, Kirolo, Ssanga, Kiweebwa n'awalala.
Kyokka Pulezidenti teyayimiridde olw'okwewala okusaasaanya obulwadde bwa corona. Okusindogoma kw'eng'oma n'ebidongo byabuutikidde ekkubo okuva e Matugga gattako n'ebiyitirirwa ebingi ebyazimbiddwa ku makubo awamu n'okuyimba nti; "tajja kugenda, Muzeeyi amalako".
Abakulembeze abaawangula akamyufu ku bubaka bwa Palamenti baalabiddwa nga batimba ebipande ku makubo okwabadde; Patricia Magara (Katikamu South) Gadafi Nasur (Katikamu North), JC Muyingo (Baamunanika), Charles Nsereko (Nakaseke South) nga bali wamu ne Rogers Mulindwa, omwogezi w'ekitebe kya NRM.
Abayimbi ab'amannya nabo baacamudde abantu gye baayise ne ku mukolo gw'okutongoza okwabadde; Ronald Mayinja, Bebe Cool, Catherine Kusasira, Jjingo Show, Phina Masannyalaze ne Big Eye. Bannaluweero baatonedde Pulezidenti ekirabo ky'entebe atuuleko ng'alamula, engabo gy'alina okwekuumisa awamu n'effumu limuyambe okutabaala.
Okuva mu 1996, Pulezidenti kampeyini ze azitongoleza mu bitundu by'e Luweero gye yatandikira olutalo olwamuleeta mu buyinza mu 1986. obusosoze,

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts