
PULEZIDENTI Museveni ayingidde mu nsonga za paasita Siraje ez'okufera basumba banne. Alagidde buli muntu eyali mu ddiiru eno okuli n'abakozi ba gavumenti bakwatibwe bavunaanibwe.
Bino Pulezidenti yabyogeredde mu nsisinkano gye yabaddemu n'abamu ku basumba ssaako abantu abalala abagambibwa nti Omusumba Siraje Ssemanda owa Revival Church e Bombo yabafera ssente ezisukka mu buwumbi obuna (4).
Bagamba nti yabasuubizanga okubayamba okuddaabiriza kkanisa zaabwe ssaako okubawa ssente okweggya mu bwavu, okubawa fiizi z'abaana, okubatwa okulambula mu nsi ya Yisirayiri era n'abasuubiza n'okugenda e South Afrika ng'eno baali balinayo olusirika.
Abantu bano abaasindidde pulezidenti ennaku n'obulumi bwe bayitamu okuva lwe babbibwa, baamutegezezza nti omupango gwalimu n'abamu ku bakozi ba gavumenti ababasuubiza okubagaggawaza nga bayita mu pulogulaamu za gavumenti era kino kyamusaanudde n'alagira bano bakwatibwe.
Pulezidenti waviiriddeyo nga Pasita Siraje ali mu kkomera e Kitalya gye yasindikibwa kkooti ng'okunoonyereza mu musango guno bwe kugenda mu maaso.
Ate abalala akakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema akaateekebwawo okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi be kanoonyerezako okuli; omuyimbi era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala, Catherine Kusasira, omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala ne Dr. Hilary Musoke Kisanja, Pasita Mondo Mugisha ne Robert Rwakandere omujaasi akola mu ofiisi ya Pulezidenti baayimbuddwa ku kakalu ka poliisi oluvannyuma lw'okukola sitatimenti.
Ebifaananyi bya President Museveni twitter