Saturday, November 21, 2020

Mmotoka ya poliisi emukutudde okugulu

Mmotoka ya poliisi emukutudde okugulu

ABADDUUKIRIZE batabukidde Poliisi, mmotoka zaayo ezaabadde mu luseregende nga ziri ku misinde gya yiriyiri emu ku zo bw'etomedde mmotoka endala omu ku baagibadde n'akutuka okugulu.

Ekyasinze okutabula abantu be baserikale ba poliisi okusooka okugaana okutwala mu ddwaaliro omu ku baalumiziddwa ennyo mu kabenje kano.

Mmotoka zino akabenje zaakakoze ssaawa nga 5:00 ez'ekiro mu kitundu ky'e Kikawuula okumpi n'ekibuga Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okulaga e Jinja. Eyalumiziddwa mu kabenje kano ye Grace Kafuko omutuuze w'e Itanda mu ggombolola y'e Nabitende mu disitulikiti y'e Iganga.

Ye munne eyabadde avuga mmotoka eyabadde yeetisse embaawo, Charles Munyigwa yafunye ebisago ebitonotono.

Ono yategeezezza nti poliisi okubatomera, mmotoka zaabwe zaabadde mu luseregende nga zivuga zibuna ekkubo nga ziringa eziwerekera omukungu kwe kumutomera ebibajje ebyabadde ku mmotoka byonna ne bisaasaana mu luguudo.

Waabaddewo akayisanyo ng'abadduukirize abaabadde basuze ku lumbe bwe baatuuse ne basooka okulemererwa okuggya omusajja mu mmotoka mwe yabadde awagamidde ng'ebyuma bimukutte.

Loole Eyabadde Yettise Embaawo.

Oluvannyuma nga bamuggyeeyo baalagidde mmotoka za poliisi ezaabadde zijjudde abaserikale abeekapise ttaano okumutwala mu ddwaaliro olw'ekigere ekyabadde kisigaddeko akatono okukutukako.

Olw'okuba baasoose kuba ng'abagaana, kyaggye abantu mu mbeera ne batandika okubalangira okutuusa lwe bamutadde ku pikippiki n'emutwala ku ddwaaliro e Kawolo ate gye yaggyiddwa okuzzibwa e Mulago.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts