Sunday, November 22, 2020

Caral Nantongo bamukoledde akabaga k'amazaalibwa n'abinyiigiramu

Carol Nantongo avudde ku kabaga k'amazaalibwa ge nga munyivu lwa bayimbi banne abayitiddwa okumujagulizako obutalabikako.

Wadde nga buli omu obwedda akola kyonna ekisoboka okumulaga omukwano n'essanyu, omuyimbi Carol Nantongo yatuuse okuva ku kabaga k'amazaalibwa ke bamukoledde nga mu mutima si musanyufu lwa mikwano gye abayimbi kugaana kujja

"Kale nyize. nze ku mukolo gyabwe bampita ne ngenda naye amazima ddala ogwange babayise ne bagaana. Banjigiriza era sigenda kuddayo kulinya ku mikolo gyabwe." Bwatyo Natongo abadde omunyivu bwayogedde.

Akabaga mikwano gya Nantongo bakategese tamanyi (surprise birthday) era okugenda mu kifo awabadde omukolo e Buziga ono abadde amanyi agenze kuyimba ku mukolo gwa kwanjula nga maneja we bwe yamuwa pulogulaamu wiiki emu emabega.

Kimuweddeko bwatuuse mu kifo we bamulagiridde nga alaba baluganda na mikwano gye natandika okwesooza n'okutabukira abamu nga abalanga ‘butamubuusa' ne bamuleeka atomere.

Oluvannyuma ateredde n'atandika okunyumirwa omukolo bakira bamuwa engoye nga bwakyusa.

Abadde akyabuuza ku bantu wano mugandawe omu ku bategese omukolo n'akamutema nti aliko bayimbi banne (amaanya agesegaliza) beeyayise okujja kyokka baganye.

Wano essanyu lisoose kumugwako natabuka nga bw'agamba nti "banjigirizza nange badangamu ne bampita kugyabwe sijja kulinyayo"

Ono yebazizza mikwano gye n'abawagizi be aba 'ttiimu Carol Nantongo' abamulaze omukwano bwe bamutegekedde akabaga ak'omulembe.

"amazaalibwa gange gaaliwo nga November 17 era nategeka omukolo omutono tono awaka enjaguza ne banange abatono kati guno gwo ogwa leero nze sigumanyi mbadde nzizze kukola (kuyimba ku kwanjula) naye mwebale nnyo era buli omu Katonda muddizewo wajje" 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts