Saturday, November 21, 2020

Famire z'abattiddwa zaagala abaabakubye amasasi bakangavvulwe

Famire z'abattiddwa zaagala abaabakubye amasasi bakangavvulwe

FFAMIRE z'abantu abaakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa ku Lwokusatu baagala Gavumenti ebaliriyirire.

Charles Balikoowa nga ye taata wa Edward Mukwaya abadde makanika wa ppikippiki
nga batuuze e Nabaziza e Kyengera yagambye nti omwana we yafiiridde bwereere
kubanga teyabadde mu kwekalakaasa.Yasabye Gavumenti ebakwatizeeko mu nteekateeka z'okuziika.

Vincent Ssebunya abadde akozesa omugenzi yalaze we baamukubidde amasasi .
Yagambye nti eyamukubye yasoose kumugoba okutuusa bwe yamutuuseeko n'amukuba
amasasi mu mbiriizi agaamuttiddewo.

Ate ffamire ya Suudi Mawejje, makanika wa mmotoka eyakubiddwa amasasi e Katwe
yategeezezza nti omugenzi alese abaana abato abeetaaga obuyambi n'asaba
Gavumenti okubayamba.

Nasimu Namagembe mwannyina ayagala abasse omuntu
waabwe bakangavvulwe. Omugenzi abadde mutuuze w'e Kyengera Masanda ng'alese
abaana bana okuli be bbebi ow'emyaka ebiri.

Lawrence Mujuzi 24, makanika e Kyengera naye anyiga biwundu oluvannyuma lw'okukubwa essasi mu mukono. Ono agamba nti essasi baalimukubidde waka.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts