Thursday, November 26, 2020

Diego Maradona eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna afudde

Diego Maradona eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna afudde

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde.

Maradona ng'amannya ge ye Diego Armando Maradona abadde alina emyaka 60 w'afiiridde. Maradona okumanya yacanga akapiira abantu mu nsi nnyingi  omuli Yitale, Argentina n'endala basinza nga Katonda.

Ono nzaalwa ya Argentina era yafudde oluvannyuma lw'omutima okwesiba, ono amaze ebbanga nga mulwadde.

Yaliko omutendesi wa ttiimu eziwera era ze yawangulira ebikopo nga muno mwe muli Argentina, Yitale, Spain.

Maradona yazannyiranga mu Boka Juniors mu Argentina, olwo Barcelona n'emugula n'agenda mu Napoli ekya Yitali yagiwangulira ekikopo  n'ekirala kye wangula mu liigi y'e Bulaaya

Mu 1986 eyali e Mexico ye yayamba ensi ye Argentina okuwangula ekikopo kya World Cup, muno mwe yakubira ggoolo y'omukono. Baawangula Bungereza ku ggoolo 2:0. Ate ku faninolo ne bawangula Girimaani ggoolo  3;2.

Yalondebwa emirundi ebiri ekibiina ekigatta omupiira mu nsi yonna  (FIFA) ng'omuzannyi asinga okuzannya akapiira mu nsi yonna. Naye bamuvunaananga olw'okuzesa ebiragala lagala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts