Wednesday, November 25, 2020

Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kavumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu mu Uganda

Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kavumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu mu Uganda

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kavumiridde ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo wiiki ewedde, oluvanyuma lw'okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu eyesimbyewo kubwa pulezidenti.

Akola nga ssentebe w'akakiiko kano Dr. Katebalirwe Amooti wa Irumba asinzidde mu lukiiko lwa Bannamawulire lwatuuzizza ku kitebe ky'akakiiko ekisangibwa ku Twed Plaza mu Kampala n'avumirira ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyalabikidde mu kwegugunga kuno.

Anokoddeyo okutta abantu okwakoleddwa abamu ku bakuumaddembe, okwonoona bizinensi z'abantu n'ebyobugagga byabwe, okukuma ebipiira mu nguudo n'okuteekamu emisanvu ekyalemesezza abantu eddembe lyabwe ery'okutambula n'ebikolwa ebirala ebyakoleddwa abeekalakaasi.

Wano wasinzidde n'asaba ebitongole ebikuumaddembe okunonyereza obulungi ku byabaddewo, abantu ababyenyigiddemu bakangavvulwe. Abasirikale abasse abantu nabo asabye bagololwe ettumba kubanga wadde embeera yabadde nzibu naye baabadde basobola okugikakkanya nga bayita mu mateeka ng'ennyingo ya Ssemateeka eya 221 bwebalagira.

Asabye Bannabyabufuzi okusomesa abantu baabwe ku ngeri gye bayinza okulaga obutali bumativu mu mirembe nga tebayonoonye bintu, n'awa ekyokulabirako ky'abantu abaabadde bakuba emotoka za gavumenti n'abazibaddemu, baagambye nti olumu besanga nga bakuba abantu abali mu kubalwanirira okugeza Abalamuzi, Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu n'abalala.

Era akubirizza abantu bonna omuli abakungu ba Gavumenti, Bannabyabufuzi n'abantu ba bulijjo okulekeraawo okukozesa olulimi oluleeta obusungu n'obukyayi mu bantu. Awadde eky'okulabirako ky'ebyayogeddwa Minisita w'obutebenkevu Elly Tumwine, nti poliisi erina obuyinza okukuba ab'ekalakaasi amasasi ne battibwa singa babeera bayitirizza effujjo, kyagambye nti bo ng'akakiiko tebasobola kukiwagira.

Agambye mu kiseera kino akakiiko kali mu kunonyereza okulaba abantu abaakoseddwa n'abo abali mu makomera nga bafuna obwenkanya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts