ABANTU bangi bwe bazaala tebaddamu kwefaako, ekibaleetera okufeedinga ng'enjogera y'ensangi zino. Kino si bwe kiri ku Anitah Annet Nantumbwe 30, ow'e Nansana. Yannyonnyodde LAWRENCE MUKASA byakola okwekuumira ku mulembe;
ENGOYE
Ebimu ku bisinga okutwala ssente zange kwe kwambala. Engole eziggyayo ffiga yange
obulungi, nzigula okuva ku 100,000/- okusinziira ku kika n'ekifo. Nfuba okugula ezo
eziri ku mulembe, lwakuba waliwo engoye eziboola kkala y'omuntu, era kibi okulowooza nti ekinyumira ku mulala naawe kikukolera.
Engoye nnyambala mpya era nziggya mu dduuka lyange, ate maama agitta tagiwoomya?
OLUSUSU
Ebizigo bye nkozesa nze mbyetabulira era nabituuma Streachless Cream. Mbikola mu
bibala omuli ovakkedo, kkaloti, amapaapaali, cucumber n'ebirala. Si kirungi kwesiiga
bizigo by'osanze kubanga biyinza okukufuukuula olususu.
ENVIIRI
Saagala nnyo kusiba nviiri kuba zimmalako emirembe, naye nsinga kwettanira wiigi za
Human kubanga zo oziggyako n'ozizzaako ng'olina gy'olaga.
Ngula eziwerako kubanga nnina okukyusaako, nga zitera kummalako 250,000/-.
FFIGA
Katonda bw'aba yakugonnomolako ffiga olina okugikozesa kuba etegeeza kinene nnyo ku mubiri gw'omuwala. Nfuba okulaba ng'engoye ze nnyambala zigyiggyayo bulungi ate simala galya buli kye nsanze okusobola okugikuuma. Dduyiro naye simwerabira.
ENSAWO
Ensawo zimmalako emirembe era nsinga kwettanira buno obutonotono obwa Clutch
oba Cross bag, ze ngula ku 50,000/-.
ENGATTO
Engatto zirina ky'amaanyi kye zongera ku muntu ayambadde n'anyuma. Ezigenda ku
mbaga oba okwanjula ate si ze nnyambala nga hhenda awutu n'omwagalwa wange. Ekirala, olugoye lw'oyambala lusalawo kinene ku ngatto gy'olina okwambala.
Eza kakondo zitera okummalako 100,000/-.
ENJALA
Nzitwala mu saluuni ne baziyooyoota ne nsiigako cutekisi gwe bayita Gel alabika obulungi ng'agendera ku ngalo zange. Kino nkikola oluvannyuma lwa wiiki emu kuba
abeera atandise okufeendinga. Nzisiigira 50,000/-.
EBYOKWEWUNDA
Nfuba okulaba nti ebyokwewunda sibisuulirira, era emikuufu, eby'okumatu, liipusitiiki, ne kalonda yenna ayongera okulabisa omuwala obulungi, mulina. Ntera okubigula
wonna we nsanze, nga bitera okummalako 100,000/-.