OBULWADDE obuluma Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwazze nga musujja okukkakkana ng'ali ku kitanda mu IHK Kampala. Assiddwa mu kifo ekyenjawulo yekka era okutuusa eggulo yabadde tekkirizibwa bantu ng'abasawo bakyalinda ebiva mu kumukebera corona n'endwadde endala.
"Yaleeteddwa mu ddwaaliro ku Ssande ng'ali bubi. Kati ali bulungiko okusinga we yajjidde. Twamukebedde corona n'endwadde endala kye tuvudde tumuteeka yekka nga tulinda ebinaava mu kukebera", omu ku basawo abamujjanjaba bwe yategeezezza.
Mutabani we amujjanjaba Sulaiman Sowed era eyamututte mu ddwaaliro yagambye nti kitaawe abadde mugonvugonvu okumala wiiki nga bamujjanjabira waka nga balowooza musujja gwa nsiri.
"Ku Ssande obulwadde bwamunyiikiridde kwe kumuleeta mu ddwaaliro. Tulindiridde ebinaava mu kumukebera", bwe yagambye.
Kyokka omusawo yagambye nti okutuusa nga bafunye ebivudde mu kukebera tebannakakasa bulwadde. Okwogera bino amawulire gaabadde gasaasaanye nga Muzaata bwe yatwaliddwa mu ddwaaliro ng'alumizibwa nnyo mu lubuto nga kyandiba nga yalidde obutwa.
Ate eky'okumwawula n'assibwa yekka nakyo kyataputiddwa ng'alina corona. Bino abasawo baabigaanyi ne bategeeza nti bya kuteebereza.
Muzaata abeera Kawempe-Keti Falaawo. Mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gy'ali wassiddwaawo abaserikale okuziyiza abaagala okulaba Muzaata.
Sheikh Muhamood Kibaate amyuka Supreme Mufti e Kibuli yagambye nti bamanyi ebya Muzaata okulwala. Yatwaliddwa mu ddwaaliro ku ku Ssande ekiro.
Yasambazze ebigambibwa nti yalidde obutwa n'agamba nti balinze lipoota y'abasawo entongole. Kyokka n'agattako nti yakebeddwa corona kyokka bakyalinze ebinaava mu kumukebera.
N'agumya abantu: Nnasembye okwogera naye ku Lwokubiri ku makya ng'embeera egenda etereera.
Muzaata ye mwogezi w'e Kibuli. Mukyala we Klutum Nabunya Muzaata yagambye nti ekikulu kusabira Muzaata, Allah amussuuse n'okulinda ekituufu ekiva mu basawo.
SHEIKH MUZAATA Y'ANI?
Azaalibwa omugenzi Sheikh.Adam Muzaata eyali omusomi w'edduwa mu Lufula zooni e Bwaise okumpi n'e Kimombaasa.
Yasooka kusomera waka oluvannyuma kitaawe n'amutwala ku Bilal Islamic School e Bwaise eno yasomerayo katono n'amutwala ku Bilal Quran Islamic School e Wandegeya. Y'akulira Dawa (okusaasaanya eddiini) e Kibuli.
Omu ku bayigiriza Obusiraamu abasinga ettutumu. Okubuulira kwe atera okukugeraageranya n'embeera eriwo mu ggwanga n'ajuliza kulaani. Ate ku mikolo gy'ebyobuwangwa, okwanjula oba embaga akozesa ebigambo ebisanyusa naddala abakyala okugeza "mukazi wo omuwanga ku ssente; ojjukiranga okumutwalako out" n'ebirala.
Wednesday, November 25, 2020
Embeera ya Muzaata mu ddwaaliro
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...