FRED Bamwine yali mulunzi wa nkoko okutuusa lwe yazuula ekyama mu nte z'amata z'alundira mu kiyumba nga kati zimuwa liita 500 olunaku. Bamwine ye nnannyini ffaamu ya Freba ku kyalo Walufumbe e Kyanja mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala. Okulunda ente akumazeemu emyaka 12 era agamba nti ku ffaamu alinako ente 60 nga zonna za mata.
Ettaka lyonna okuli ffaamu ya Bamwine liweezako yiika emu. Kuliko amaka ge mw'asula, amayumba g'abakozi , ekiraalo ky'ente n'ebiyumba mw'atereka emmere y'ente . Ng'oggyeeko okulunda ente, alinako embuzi ez'olulyo. Bamwine ye mubaka wa Pulezidenti e Mukono wabula agamba nti obulunzi bumusasula okusinga n'omusaala gw'afuna.
EBBULA LY'EMMERE LYANGOBA MU NKOKO: Natandikira mu kulunda nkoko ze namalamu emyaka 10 . Nali mpezezza enkoko 18,000 kyokka ne tufuna obuzibu mu kuziriisa. Nasalawo okuzeggyako nga sikyasobola kukola magoba .
NTANDIKA OKULUNDA ENTE Bamwine agamba nti we yalundiranga enkoko ng'alina ente bbiri ezivaamu amata g'abaana okunywa awaka. "Emmere y'enkoko we yabulira nali mmaze okuloza ku katale k'amata ku ssomero ly'abaana bange gye nali nkulira akakiiko akagatta abazadde. Abazadde baasalawo nti abaana baabwe batandike okunywa amata ku ssomero ne ntwala kontulakiti y'okubagabirira amata.
ENTE NZIKUBA MPISO OKUWAKA Nnunda nte zivaamu mata zokka. Sirinaako nnume okwewala okusaasaanya ekiyitiridde nga ngirabirira . Ente etuusizza okuwaka omusawo agikuba mpiso. Nkozesa omusawo w'ebisolo omukugu mu kuwakisa ebisolo n'azikubaamu amazzi agalimu enkwaso ey'ekika ky'ennume gye nsiimye.
OKUKUUMA EBIWANDIIKO Kino kinnyamba okumanya ekika ky'ente gye nnina , amata agagivamu n'ebirala . Ne bwe mba ngitunda mmanya ekika kye ntunda n'enneeyisa yaakyo.
FFAMIRE Buli muntu awaka alina omulimu gw'akola ogumusasuza. Nze nsasulwa 2,500,000/- omwezi. Mukyala wange ye mumyuka akola byonna nga siriiwo era asasulwa 1,500,000/- buli mwezi . Mutabani waffe omukulu ali Makerere y'avuga emmotoka n'asomba ebisagazi n'okutwala obusa mu lusuku e Kyampisi n'akomawo n'omuddo era asasulwa 250,000/- buli mwezi. Muwala waffe naye ali Makerere y'avunaanyizibwa ku kubanja ssente ezitundiddwa mu amata buli wiiki. Ono mmusasula 200,000/-.
OMUDDO Omuddo tugunoonya yonna gye guli. Tusaawa n'empya z'abantu nga tebatusasudde n'akuuma nga twagala muddo . Omulala bagusaawa ku mabbali g'enguudo .Omulala tuguggya ku ffaamu yaffe e Kyampisi awali ebisagazi. Ente zange sizipimira muddo gwe zirya. Omuddo gwe nzigabirira mmala kugukaza". Bamwine agamba nti omuddo omukalu gukkusa mangu ente kubanga amazzi gabeera gakendedde. Mulimu silage , ayongerako ebikanja , milk meal , molasses , yeast ne zisobola okukkuta obulungi.
ABAKOZI Ku ffaamu nninako abakozi 20 be nsasula wakati wa 100,000-250,000/- okusinziira ku ky'akola .
ENTE ZISULA KU MIFALISO Omufaliso guno gubeera gwa kipiira guliko omubiri mutonotono nga mugonvu ate muweweevu. Ente bwe yeebakako kigiyamba okufuna ebbugumu mu mubiri era 22 Bukedde Lwakuna November 12, 2020 Ente za Bamwine azisuza ku mifaliso ne zimuwa ekiwera Ente za Bamwine zisula ku mifaliso. Ekiyumba mw'akuumira obusa. ra kitangira ente okufuna amabwa ku ddiba gattako okubeera ennyonjo.
ENGERI GYE NFUNAMU Ente yange Peace evaamu liita 40 olunaku. Buli liita ngitunda 2000/- ng'olunaku ensasula 80,000/- . Mu wiiki emu ente ensasula 560,000/- ate omwezi empa 2,240,000/-. Endala zivaamu liita 20- 30 olunaku . Kyokka zonna tezikamwa mu kiseera kino. Obusa tubutunda nga ttipa ya 80,000/-.
Ebisigalira bya Bio gas ebiri mu ngeri y'obusa obw'amazzi mbitunda ng'ekipipa kya 25,000/- buli ppipa. Ente zange nzitunda wakati wa 3,500,000/- ne 10,000,000/-. AKATALE Akatale katandikira mu mikwano gyange . Nnina omukozi avuga bbooda avunaanyizibwa okutuusa amata ku bakasitoma. Nnina ekyuma ekinnyogoza amata e Kamwokya, nkiteekamu liita 400. Nneekwatiramu mu mirimu gyonna. Emisomo ngyetabamu sisindika bakozi . Nsula ku ffaamu nga ndaba buli kigenda mu maaso. OKUSOOMOOZEBWA Tubulamu ssente okuddukkanya ffaamu okulaba nga tufuna buli kyetaagisa. Omuddo gwa kunoonya n'abakozi okudduka kyokka ng'omaze okubatendeka.
TEKINOLOGIYA Tufumbisa ggaasi avudde mu busa bw'ente n'okwakisa amataala. Amazzi ge tukozesa tugalembeka okuva ku nnyumba ne gakuhhaanira mu ttanka ey'omu ttaka.
PULAANI GYE BUJJA Okukola yogati ne ice cream. Okubunyisa enjiri y'okulunda ente mu buli maka, okuzimba ebisulo ebigenda okutuyambako okusuza abayizi abavudde ewala. Okugula ekyuma ekisalaasala omuddo. Nafunye olukusa okuva mu Directorate of Industrial Training (DIT ) okutendeka abalunzi nga mbakwasa satifikeeti.