ABATUUZE b'e Buloba ku lwe Mityana batuuzizza olukiiko lw'ebyokwerinda ne bayisa amateeka ge bagenda okugoberera okulwanyisa ababbi b'ebijambiya ababatadde ku bunkenke. Olukiiko luno olwatudde e Buloba ku Ssande nga lwetabyemu akulira poliisi y'e Buloba ASP Edrick Niwamanya n'aba LDU, abatuuze baatadde akaka olw'okubbibwanga olubeerera ne batafuna kuyambibwa.
Abatuuze beemulugunyizza ku bubbi bw'abeebijambiya, ennamba z'emmotoka, okubba mmita za ttaapu z'amazzi, okuteega abantu ku makubo n'okumenya amayumba g'abantu emisana n'ekiro. Juliet Nabitaka yanenyezza olukiiko lwa LC olw'okwerumaaluma ekibalemesezza okukola emirimu ng'okutuuza enkiiko, wabula ne beesiba mu by'okussa olukongoolo ku batuuze ababawabula.
Abatuuze bakkaanyizza nti LC nnene nnyo kuba etwala ebyalo bisatu noolwekyo kyetaagisa okwekolamu obukiiko obw'enjawulo okusobola okutebenkeza ekyalo. Abbey Muwonge avunaanyizibwa ku butonde bw'ensi ku lukiiko lwa LC era eyakiikiridde ssentebe yalumirizza abaana enzaalwa okuba emabega w'obumenyi bw'amateeka kuba be baleeta ababbi abava mu bitundu ebirala. Yanenyezza abatuuze olw'okusirikira abantu abakyamu be bamanyi ne batabaloopa.
ASP Niwamanya yagambye nti abadde afubye okutereeza ekitundu naddala e Kasero ne Kapeeka, n'asuubiza okussa amaanyi e Bunwa mu kiseera kino. Yalaze okusoomoozebwa kwayitamu olw'okubeera ng'ekitundu kyatwala kirimu ebyalo 23 ate nga n'emmotoka ya kabangali gye yali akozesa yafa. Lt. Joshua Lyada akulira aba LDU yalabudde nga bwe batagenda kuttira ku liiso mumenyi w'amateeka. Era omuntu yenna gwe banaasanga ekiro n'adduka yeenenyenga yekka.