Friday, November 6, 2020

Eyatandika essomero lya Makonzi aziikiddwa

Eyatandika essomero lya Makonzi aziikiddwa

OMUTANDISI w'essomero lya ya Makonzi Boarding School e Makonzi mu disitulikiti kati ey'e Kassanda, John Masembe yaziikiddwa eggulo mu maka ge e Malonzi. Essomero lya Makonzi lyayitimuka nnyo mu myaka gya 80 era nga lye limu ku gaali gasinga ettutumu n'omutindo gw'ebyenjigiriza mu ggwanga.

Ng'oggyeeko essomero, Masembe (82) yaliko omulimi w'ebikajjo omututumufu ng'alina ebyuma ebibikamula oluvannyuma n'akolamu ssukaali ggulu oba kaloddo. Kuno yagattako n'okulima kasooli mu bungi. Bino byafuula Masembe omugagga ow'amaanyi mu disitulikiti y'e Mubende nga tennakutulwamu era nga y'omu ku basinga okuba n'ettaka eddene.

Bp. Mutebi yeegasse ku lotale n'asiima abaamudduukirira Kawalya (owookubiri ku kkono) ng'aliko by'annyonnyola Omulabirizi n'omukyala (wakati). Ku kkono ye Enrest Kavulu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Mengo. 

Flavia Basuuta, muwala w'omugenzi yamwogeddeko ng'abadde omuzadde, omukwanaganya w'abantu ate afuddeyo okukolerara ekitundu mu bintu eby'enjawulo. Masembe yazaalibwa mu 1938 era yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago ku Lwokubiri.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts