
Abawagizi b'omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana bakyakonkomalidde ku kkooti e Makindye nga balindirira omuntu waabwe okuleetebwa mu kkooti. Bano beegatiddwako munnamateeka we Loodi mmeeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago.

Lukwago agambye nti omulamuzi amutegeezezza nga fayiro ya Ssewanyana bwe yawandiisiddwa kyokka nga tennalabwako ku kkooti. Ssewanyana akyakuumirwa ku poliisi y'e Katwe.