
Khadhi wa Greater Mukono, Sheikh Abdunoor Kakande agobye Bayimaamu abeesimbyewo ku bifo ebyobufuzi. Abalagidde bazzeeyo obuyinza mu bukiiko bw'emizikiti.

Sheikh Kakande agambye nti ebyobufuzi ebijjudde enkwe n'obulimba omuntu tasobola kubigatta n'eddiini n'olwekyo Baimaamu tebateekeddwa kuddamu kusaazisa mu mizikiti.
Sheikh Kakande era avumiridde Abasiraamu abalinda munnaabwe omutamiivu n'amala okufa olwo mu kuziika ne baleeta akavuyo nga tebaagala kumusaalira sso nga mu bulamu abaddenga anywa nga bamutunuulidde era wano awabudde nti emizikiti giteekewo obukiiko obunaatunuuliranga ensonga z'abatamiivu, abawasa abakazi nga tebasoose kutuuka mu bazadde baabwe wamu n'abatasomesa baana.
Bino abyogeredde ku kitebe kye Ttwale e Namagabi mu Kayunga Abasiraamu kwe bagabanidde ssente obukadde 17 ze baakunganyizza mu Zakat mu mwaka 2019.
Akulira ettwale lya Namagabi, Sheikh Muhammed Ssemambo agambye nti ssente bazigabidde abo abali mu bwetaavu ng'enkola y'Obusiraamu bweri. Abasiraamu babakwasizza amabaasa agalimu ssente era ne basiima olw'okubadduukirira.