Saturday, November 14, 2020

Kalembe ayingidde Jinja mu sitayiro

Kalembe ayingidde Jinja mu sitayiro

EYEESIMBYEWO ku kifo kya Pulezidenti, Nancy Kalembe acamudde abawagizi
be bw'ayingidde mu kisaawe kya Kakindu e Jinja n'atandika okukola dduyiro nga bw'abuuka n'omupiira gwe mu ngalo.

Kalembe olwamaze okudduka mu kisaawe n'atandika okwogera eri abawagizi be abaabadde bamulinze mu kisaawe.

Poliisi yasoose kumulemesa kuyisa bivvulu mu kibuga ky'e Jinja era akulira
poliisi mu Jinja, Ahmed Hasunira n'amulagira asooke agende ku ofiisi z'akakiiko k'ebyokulonda ku Grant Road oluvannyuma lw'okubuusabuusa pulogulaamu
ye. Kalembe yabadde alina okutongoza kkampeyini ze ku Mmande, n'afiirwa jjajja we
bwatyo n'ayimiriza asooke aziike.

Oluvannyuma lw'okusisisinkana akakiiko, baamukkirizza okugenda mu maaso n'okutongoza kkampeyini ze mu kisaawe ky'e Kakindu.

Kalembe yavudde ku luguudo lwa Lubogo ng'alina omupiira nga akabonero ke, n'ayita ku Gokhale, Kutch, Aldinah, Clive Road East, Main street ne Gabula Road
nga bw'awuubira abantu.

Bwe yabadde ayita okumpi n'akatale k'e Jinja, waliwo omutuuze eyamuwadde
ekinusu ekya 500/- okwongereza ku ssente z'akozesa.

Bwe yatuuse mu kisaawe ky'e Kakindu, yabuuse mu mmotoka n'addukamu mu ngeri y'okukola dduyiro okwetooloola ekisaawe ng'abantu bwe bamugoberera.

Ssentebe wa LC 1 ow'ekyalo kye Gabula Road, Robert Tenywa yasabye Kalembe nti bw'anaaba ayiseemu asooke kukola ku kukulaakulanya ekibuga Jinja ng'atandikira ku nguudo.

Kalembe yayaniriziddwa ssentebe wa LC III owa Jinja Central Divizoni, Mubaraka Kirunda owa FDC.

Kalembe yagambye nti ajja kugatta amawanga gonna 56 awatali kusosola n'asaba bamuwe akalulu akulembere eggwanga.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts