MMEEYA w'e kibuga ky'e Mukono, George Fred Kagimu aggyeeyo n'ag'omu buto okulaba ng'awangula ekifo ky'omubaka wa palamenti owa munisipaali y'e Mukono.
Kagimu nga ye ssentebe w'ekibiina kya DP mu disitulikiti y'e Mukono era nga ye kkaadi kw'avuganyiza agamba nti by'akoze mu Mukono mu myaka egitannawera n'etaano gy'amaze nga mmeeya bimumala okufuuka omubaka wa palamenti ow'ekitundu kino.
Bino yabyogeredde mu lukuηηaana aba DP lwe baakubye mu Industrial Area e Mukono ku Lwokusatu nga banoonya obululu.
Agamba nti asobodde okulima enguudo n'aggulawo n'empya ezibadde teziriiwo ng'eziyita mu Industrial Area n'agamba nti zino ziyambyeko okukendeeza
ku kalippagano k'ebidduka mu Mukono.
"Nnina enguudo ze njiye koolaasi ng'olwa Mulyanti oluyita ku mbuga
y'essaza ly'e Kyaggwe, oluva ku Serado e Seeta ne lugenda e Bajjo n'endala.
Enguudo mu kibuga wakati nzitaddeko amataala. Ebyo n'ebirala bye bimu ku
bye nsinziddeko okusaba Bannamukono bannyongereyo mu palamenti," Kagimu bwe yannyonnyodde.
Kagimu yatambudde n'abakutte kkaadi ya DP abalala okuli Jamil Kakembo ayagala ekya ssentebe wa divizoni ya Mukono Central, Christopher Kaddu Namutwe ayagala ekifo
kya meeya wa munisipaali y'e Mukono, Joseph Wamala ayagala ekya ssentebe wa Goma divizoni n'abalala.
Source