
Kitalo! Fr. Joseph Lumanyika afudde. Rev. Fr. Joseph Lumanyika eyali akola ku nsonga z'abavubuka mu Ssaza ly'e Kampala afudde.
Mu kiseera kino Fr. Lumanyika abadde akola ku nsonga z'abvuvuba ku ssomero lya St. Augustine's Wakiso College.
Cansala w"essaza ly'e Kampala Fr. Pius Male akakasizza okufa kwa Fr. Lumanyika eggulo ku Lwokutaano.
Fr. Pius Male akikiiridde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga agambye nti wategekeddwaako okusaba ku Mmande November 23 mu Lutikko e Lubaga ku 8:00 ezoolweggulo era oluvannyuma aziikibwe e Lubaga.
Omu ku bavubuka abaakolako naye mu myaka 90s ne 2000 Cissy Kagimu yategeezezza nti baafiiriddwa nnyo Fr. Lumanyika eyakola omulimu ogw'ettendo okukunga abavubuka okwettanira ebyemizannyo okubayigiriza okuyamba abatalina n'ebirala bingi.