Friday, November 20, 2020

Poliisi ebawadde omufu oluvannyuma lw'emyezi 10 ne bamuziika

Poliisi ebawadde omufu oluvannyuma lw'emyezi 10 ne bamuziika

Abenganda z'omusajja eyattibwa olw'ensonga z'ettaka basanyufu oluvannyuma lwa poliisi okubawa amagumba g'omufu waabwe amaze emyezi 10  bamuziike.

Bano kuliko; nnamwandu Prossy Scovia Nakibira,mwannyina Feddy Naluyinda, abaana be basatu okuli Katumba Martine 22,Luyinda Nicros 20 ne Luzze Ronald 18 .

Bakola Emikolo Ku Magumba Nga Tebannagaziika.

Bazinga

Bannaddiini Nga Basabira Omufu.

Nga BaziikaOmugenzi Francis Ssentongo ng'ono yasangibwa attiddwa mu ntiisa ng'ali mu nsiko ngasibiddwa waaya ku nkonge ate abaamutta ne bagezaako okumukumako omuliro babuze obujulizi.

Bano baku kyalo Muwangi e Luweero. Omugenzi yaziikidwa mu kire ky'enkuba era nga baziise magumba gokka kubanga amaze emyezi 10 bukyanga attibwa naye nga yali yaterekebwa mu ddwaaliro nga poliisi enoonyerezza ekyamutta ssaako n'okukakasa oba ddala omuntu ono waabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts