Magie Kayima amanyiddwa nga Nabbi omukazi azze na nkuba mpya. Bwe yabadde mu lumbe e Kawaala ng'akungubagira eyali bba, omugenzi Yiga Abizzaayo, yawuuniikirizza abantu bwe yabategeezezza ng'ebigere bye bwe biriko amafuta agagaba obugagga.
Abamu ku bakungubazi bakkiriza by'ayogera ne batandika okwesomba okufuna emikisa gy'obugagga kyokka ng'okukusabira osooka kuteeka ssente manya ‘ensigo' mu kisero kye yazze nakyo. Omanyi Nabbi Omukazi y'omu ku bayimbi abaakubidde abantu omuziki mu kivvulu kye baayise ‘‘okusiibula Yiga'' nga kyetabiddwaamu abayimbi abakooka ennyimba z'eddiini n'ez'ensi.
Bwe yatuuse ku luyimba ‘'Nabbi Omukazi'' n'ategeeza nti Yiga nga tannafa yaleka amugambye nti buli lw'ayimba oluyimba luno alina okusabira abantu kubanga lujjudde obubaka bwa mwoyo mutukuvu. Kwe kulagira abantu abaabadde mu lumbe ng'Ekkanisa ekubyeko nti awulira amafuta ku bigere bye.
Yasabye buli muntu okuggyayo ensigo gy'alina agiteeke ku bigere bye nga bwasaba ebintu bisatu by'ayagala era agenda kubifuna mbagirawo. Abantu baatandikiddewo okwesomba era obwedda bakanyama balwanagana nabo obuteerinnya. Kyokka abamu ku bakungubazi baawuliddwa nga beewuunaganya ng'abalokole bwe bamanyi okunoonya ssente nga beebuuza engeri ebigere by'omuntu gye biriko emikisa egigaggawaza.