Sunday, November 1, 2020

Obukodyo abattulafi ki bwe bakozesa okuggya enguzi ku bavuga ebidduka

OWATTULAFIKI bw'akuyimiriza n'akugamba nti "weekube empi", ng'omanya okuvaawo olina kusooka kukwata mu nsawo n'obaako ky'omuwa, n'alyoka akukkiriza okweyongerayo. Mu kussa mu nkola amateeka g'okwewala Corona naddala agakugira okusussa mu muwendo gw'abantu abalina okutambulira mu mmotoka, abaserikale b'oku nguudo (ttulafiki) kati mwe basinga okuggya ensimbi ku bavuzi b'ebidduka.

Ddereeva eyakwatiddwa ng'agoberera owattulafi ki.

Luke Mukasa omuvuzi wa ttakisi ku luguudo lw'e Ntebe agamba nti; enjogera eyo abattulafi ki baagigunjaawo okusaba enguzi mu ngeri eteri ya kusika muguwa ne baddereeva, oluvannyuma lw'abavuzi ba ttakisi okulaajananga nga babasabye enguzi esukkiridde nti, "Afande onkubye omuggo…" Awo abattulafi ki nti we baava okutandika enjogera ya Weekube empi…omuggo guluma…" nga bategeeza nti, "Mpa z'olina, bwe nnaakusaba ze njagala, ojja kukaluubirirwa."

Baddereeva bangi bazze beemulugunya ku baserikale ba ttulafi ki abaabafuula olusuku nga kumpi yafuuka nkola okubasoloozaamu ensimbi nga babakutte mu misango naddala egyekuusa ku kutikka abantu abasukka mw'abo abaalagirwa okusaabalira mu bidduka mu kaweefube w'okwewala Corona, n'emisango gy'ebidduka ku nguudo omuli n'ebiwandiiko nga pamiti n'ekidduka okuba nga tekirina bisaanyizo.

Wano ng'akwata mu nsawo.

Abamu batuuka n'okukwatibwa ne bateekebwako empingu nga balemeddwa okukkaanya ate olumu ebidduka bye bakwata ne babitwala ku poliisi nga n'ebimu biremerayo naddala ppikipiki ne zituuka n'okumeramu omuddo. Okwemulugunya okwo kwe kwawalirizza Vision Group okusindika ttiimu okuzuula ebibeera ku nguudo n'enguzi eyogerwako mu baserikale b'oku nguudo.

DDEREEVA EYABADDE TALINA SSENTE YABAWADDE SSABBUUNI                                                                                                        Amakanda twasoose kugasimba ku luguudo lw'e Ntebe we twabadde tufunye okwemulugunya okungi ku by'enguzi mu baserikale b'oku nguudo. Nga waakava e Najjanankumbi ng'onootera okutuuka ku siteegi y'oku Siteera (Stella) okuliraanira ddala Nyondo Pub, abaserikale we batera okuteegera okukakasa nti bakwasisa amateeka g'oku nguudo.

Owattulafi ki ng'atunuulira eyabadde akwata mu nsawo.

Emu ku mmotoka ze baayimirizza nnamba UBG 943K, nnannyini yo yalabise ng'abeegayirira. Owattulafi ki omu yasse ku bigere n'adda emabega, olwo n'alekawo munne amalirize enteeseganya. Kino nti bakikola okwanguyiza ddereeva gwe baba bagezaako okuggyamu ensimbi kubanga bwe babeera ababiri, okuteeseganya kutera okukaluba era nti balina n'okutya nti ddereeva asobola okwekengera n'atasumulukuka ku by'okuwaayo enguzi nga yeekengedde abantu ababiri!

Kyokka mu nkola y'emirimu gyabwe, gwe balese ng'ateesa, bw'amaliriza enteeseganya, kye bamuwadde kyonna alina okukyanjulira munne era oluvannyuma bagabana akawungeezi nga bannyuka. Kino kyennyini kye kyabadde ne ku musajja wa UBG 943K. Omusajja ono eyabadde mu ssaati ey'akapere yeegayiridde nnyo era owattulafi ki yakyuse enfunda eziwera nga bw'agira n'adda ku luggi olwa kkono ate oluvannyuma n'adda ku ludda olwa ddyo, omusajja kwe yabadde ng'ali ku siteeringi.

Owattulafi ki ng'agenda ku bbuutu y'emmotoka.

Owattulafi ki yamaze ekiseera nga bwe yeetegereza munda mu mmotoka okutuusa lwe yalengedde ebintu mu bbuutu. Omusajja obwedda yeegayirira agamba nti ssente zonna ze yabadde alina yabadde aziguzeemu ebintu mu supamaketi era awo owattulafi ki we yabuulizza omusajja oba ebintu by'ayogerako by'ebyo ebyabadde mu bbuutu.

Omusajja yavudde mu mmotoka n'agenda ku bbuutu y'emmotoka n'agiggula okulaga Afande ebintu akakase era awo Afande we yamugambidde nti bw'aba talina ssente abeeko ky'amufunira ku bintu era n'omusajja teyabadde mubi n'amukwatira ssabbuuni wa Obukodyo abattulafi ki bwe bakozesa okuggya enguzi ku bavuga ebidduka Geisha n'amumuwa era ne basiibulagana nga buli omu amwenya.

Wano nga bbuutu bamaze okugiggula okulaba ebirimu.

Afande yatambudde akutte ekitole kye ekya ssabbuuni n'atuuka ku munne n'akimukwasa nga bw'amugamba nti omusajja abadde talinaamu ssente naye abawaddeyo ekitole kya ssabbuuni! Munne yakutte ekitole kya ssabbuuni n'akikuba mu nsawo, ne bagenda mu maaso n'okuyimiriza emmotoka endala.

ABATIKKA ABANTU ABATAKKIRIZIBWA BABALEKA NE BAGENDA KYOKKA NGA BAMAZE OKUTEESA                                                       E Lubowa ku luguudo lwe lumu olw'e Ntebe, Isuzu nnamba UBD 397N y'emu ku ze baayimirizza. Eno yabadde etisse abantu basatu mu maaso ekikontana n'amateeka ga COVID. Abaserikale babiri abattulafi ki baagiyimirizza ng'eva ku ludda lw'e Ntebe ng'edda ku ludda lw'e Kampala.

Ng'akwasa munne eyasigadde ku mabbali ssabbuuni.

Enkola era kumpi yabadde efaanana era omu yaleseewo munne, n'atta ebigere n'adda emabega ng'alinga ateekateeka okuyimiriza emmotoka endala. Ddereeva wa Isuzu yatandise okupapala nga bwe yeegayirira. Enzigi ez'omu maaso ez'enjuyi zombi baaziggudde olwo abaabadde munda bonna ne babaggyamu ne bafuluma ebweru.

Twakitegedde luvannyuma nti kano nako kabeera kakodyo "okuyiwa emmotoka" kisobozese Afande okuteesa ne ddereeva nga tewali abayingiridde. Ku ddereeva wa Isuzu, baamaze akaseera nga beenyoola ne Afande era oluvannyuma ne bakkaanya. Bwe baamaze okukwatagana, olwo Afande n'ayita abaabadde batambulira mu Isuzu abaabadde bamaze okudda ebbali, bakomewo mu mmotoka. Bazzeemu ne beepanga nga bwe baabadde mu maaso ne beggyawo. Afande naye yatambudde n'adda emabega okwanjulira munne ebituukiddwaako.

E KIBUYE KU MADAALA BASOLOOZA KYERE                                                                                                                                                     Ekifo ekirala abattulafi ki we batera okuyimiririza ebidduka kiri Kibuye we baakazaako ku Madaala. Kyokka wano ssente bazisolooza tebalina kwekengera kwonna wadde nga we bazisolooleza beesudde mmita nga 40 zokka okuva ku poliisi ennene (Katwe Regional Police Station).

Ekiseera kye twamaze nga twetayirira ekifo kino okuzuula ebikolerwawo wakati wa July ne September w'omwaka guno, twakizudde nga wano, baddereeva abamu ssente bazisasulira munda mu mmotoka ng'abaserikale beefudde abalingiza ekiri munda, kyokka abalala batuulira ddala mu maaso ne boogeraganya ne baddereeva butereevu. Kyokka mulimu ne ba Afande abatatya biduduma abafulumya baddereeva ebweru ne bateesa nabo era oluvannyuma baddereeva ne bakka mu nsawo ne baggyayo ensimbi ne baziwaayo, ne balyoka babakkiriza okweyongerayo.

E Kibuye awo we twasanze omusajja omulala eyabadde mu ssaati ey'emyeso era ono baamuggye mu mmotoka ne bamwetooloola babiri, okutuusa lwe baamuggyeemu obupapula obw'enkumi ettaano bubiri, ne balyoka bamukkiriza okweyongerayo n'olugendo lwe.

POLIISI ERABUDDE KU NGUZI MU BASERIKALE BA TTULAFIKI                                                                                                                      Omwogezi wa poliisi y'ebidduka mu ggwanga ACP Charles Ssebambulidde yagambye nti poliisi erumye n'ogwengulu okulwanyisa enguzi mu baserikale baayo abakwasisa amateeka ku nguudo. Ssebambulidde yategeezezza nti buli wa poliisi ya bidduka yenna afuna okutendekebwa okwenjawulo ekimwawula ku baserikale abalala ng'oggyeeko eky'okwambala ebyambalo ebyeru nga mu bino byonna kwe kulaba ng'akola omulimu gw'okukwasisa amateeka g'ebidduka mu mateeka, mu bwesimbi n'obwanjulukufu.

Ku nsonga y'abaserikale abalya enguzi ku makubo, Ssebambulidde yategeezezza nti guno musango munene ddala eri omuserikale yenna abeera yeenyigidde mu kikolwa kino era kugenderako ebibonerezo bingi ebiyinza okumuweebwa singa wabaawo obujulizi obumuluma. Muno mulimu okusibwa mu kkomera, okussibwa eddaala n'azzibwa ku lya wansi oba okukyusibwa n'atwalibwa mu bitongole bya poliisi ebirala oba okugobwa mu poliisi.

Awadde abavuzi b'ebidduka amagezi okukola kyonna ekisoboka okufuna obujulizi ku baserikale b'oku nguudo ababasaba enguzi; okugeza nga okufuna amaloboozi gaabwe nga bakozesa amasimu era nga ssinga wabaawo obujulizi obw'ekika kino buba bumalira ddala okuvunaana omuserikale oyo nga n'oyo asabiddwa ssente afuuka mujulizi.

Linda ekitundu ekirala enkya ku byazuuliddwa ku nguudo endala n'obukodyo obulala abattulafi ki bwe bakozesa okusaba enguzi. Emboozi zino ziri wansi w'entegeeragana wakati wa Vision Group ne Democratic Governance Facility (DGF) okuyambako abantu okufuna obwenkanya n'okutumbula eddembe ly'obuntu.

Abattulafi ki nga bali ku mmotoka gye baayimirizza ng'etisse abantu abangi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts