OMUMYUKA wa Ssentebe wa NRM mu Buganda era Minisita w'ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, atongozza kampeyini y'okuyiggira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obululu obunaamuwanguza okulonda kwa 2021.
Kaweefube ono amutandikidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi gy'akwasirizza abavuganya ebifo by'obukulembeze ku mitendera egy'enjawulo bendera ya NRM n'akunga Bannabukomansimbi babayiire obululu banunule disitulikiti. Abatwalidde omuyimbi Ronald Mayinja n'ayongera ebbugumu n'okulumya abamuyeeya olw'okusala eddiiro n'adda mu NRM n'ayimba oluyimba olugiwaana era n'atandikirawo n'okusaggulira Museveni obuwagizi mu balonzi.
Mayinja olwasudemu oluyimba lwa ‘Muzeeyi akalulu kako', yasaanudde essanyu lya Bannabukomansimbi ne babinuka masejjere. Abeegwanyiza ebifo mu Bukomansimbi kuliko minisita w'abaana n'abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi ng'avuganya ku kya mubaka omukazi owa Bukomansimbi mu Palamenti ng'ayagala okuginaanulamu owa DP Veronica Namaganda.
Omubaka Ruth Katushabe Matovu ng'akomyewo addemu akiikirire aba Bukomansimbi South. Bano ne bannakibiina ab'emitendera egy'amagombolola n'emiruka baakwasiddwa bendera z'ekibiina ne basaba abalonzi okubalabira ddala. Minisisita Kiwanda yagambye nti Pulezidenti Museveni y'akyasinze okwagaliza Uganda ne bannansi baayo ebirungi nga tabasosodde mu mawanga na ddiini n'okubatereereza emirembe gye beeyagaliddemu.
Kiwanda yagasseeko nti ku mulembe gwa Museveni, enguudo zikoleddwa, amasannyalaze gatambuzibwa mu misoso gy'ebyalo, amalwaliro gazimbiddwa n'ebirala. "Museveni ye Musa wa Uganda ng'oli eyatambuza abaana ba Yisirayiri era tetuyinza kumusindiikiriza. Bw'anaavaawo ne Joshua ow'okumusikira ng'alyoka alabika okumuddira mu bigere naye alina kuva mu ffe abamubadde ku lusegere," Kiwanda bwe yaggumizza.