Wednesday, November 11, 2020

Kkooti esalawo Lwakuna ku by'akatale ka Owino

Kkooti esalawo Lwakuna ku by'akatale ka Owino

KKOOTI ewadde Lwakuna nga November 12, okusalawo ku kusaba kwa kkampuni eddukanya akatale ka St. Balikuddembe (soma Owino) abaagala okuziyiza KCCA okukyusa obukulembeze bw'akatale.

Munnamateeka Kalema.

Ku Mmande akawungeezi, omulamuzi wa kkooti enkulu Esta Nambayo yafulumizza ekiragiro ekikugira KCCA, abakungu baayo n'abantu b'ekolagana nabo okukyusa obukulembeze bwa Owino okutuusa nga kkooti emaze okuwulira omusango ogwatwaliddwaayo abaddukanya akatale kano.

Omusango gusuubirwa kuwulirwa nkya ku Lwokuna. Kkampuni eddukanya akatale kano eya St. Balikuddembe Market Stalls, Space & Lockup Shops Owners Asscociation Ltd (SSLOA) yawawaabidde KCCA omusango oguli ku fayiro 'MISC CAUSE NO 328 OF 2020 mu kkooti enkulu.

Omusango guno gwe gugenda okusalawo oba KCCA egenda mu maaso n'enteekateeka zaayo ez'okukyusa obukulembeze n'okweddiza obuyinza bw'okuddukanya akatale kano nga Pulezidenti bwe yalagidde minisita wa Kampala ne KCCA okukola, mu bbaluwa gye yabawandiikidde nga September 25, 2020.

Abasuubuzi olwafunye amawulire okuva mu kkooti ne bacacanca. "Tuli basanyufu olw'ekiragiro kya kkooti kubanga kijjidde mu kiseera nga KCCA etandise okwekweka mu bbaluwa Pulezidenti gye yawandiika, okutuukiriza ebigendererwa byayo (KCCA)," bwatyo ssentebe w'akatale Godfrey Kayongo bwe yategeezezza eggulo.

‘OWINO KATALE KA BWANNANNYINI'                                                                                                                                                       Munnamateeka wa SSLOA, Fred Kalema Ssejjinja yategeezeza nti, "Ekiragiro kya kkooti kitaasizza abasuubuzi ku mbeera ey'ekivandulo KCCA gy'ebadde eyagala okuyitamu okubanyagako ettaka okutudde akatale ke baafunira mu mateeka. Eno y'entandikwa y'olutalo lw'amateeka abasuubuzi lwe bagenda okuyingiramu ne KCCA."

Ku by'ekiragiro kya Pulezidenti, Kalema yagambaye nti, "Tetukirinaako buzibu kubanga kyogera ku butale bwa gavumenti so nga aka St. Balikuddembe ka bwannannyini." Bannamateeka ba KCCA abaakiikiriddwa omwogezi w'ekitongole kino, Daniel Nuwe Abine baagambye nti, "Tuli beetegefu okugondera ekiragiro ky'obutaddamu kulinnya mu katale ka St. Balikuddembe ssinga tunaakakasa ng'ekiragiro ekyogerwako kyavudde mu kkooti enkulu kubanga tugiwa ekitiibwa. Era tulinze ebinaava mu kkooti eno tulabe ekiddako."

Bino byonna biddiridde okusika omuguwa ogubaddewo wakati w'aba Owino ne KCCA era nga ku Mmande embeera yabadde ya bunkenke mu katale ng'abaserikale bali kumpi buli wamu mu kigambibwa nti baabadde bawa KCCA obukuumi nga yeddiza akatale kano.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts