OMUWANIKA w'ekibiina kya DP mu ggwanga, Mary Babirye Kabanda alangiridde nti wadde yeesimbiddewo ku kaadi ya DP, akalulu k'Obwapulezidenti waakukanoonyeza Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘ Bobi Wine" so ssi Pulezidenti wa DP, Nobert Mao. Kabanda nga ye mubaka omukazi owa disitulikiti y'e Masaka yasinzidde mu katale k'oku ssaza mu kibuga Masaka w'atongolezza kampeyini ze okuddamu okukiikirira ekibuga kino.
Yagambye nti newankubadde teyava mu DP naye akkiriza nti DP erina ebizibu bingi ebyetaaga okugonjoola. Yayongeddeko nti abantu baasalawo dda nti baagala omuntu omu ku ludda oluvuganya nga balaba Kyagulanyi y'alina amaanyi agasobola okuwangula Pulezidenti Museveni owa NRM era ye mmwetegefu okumuwagira ng'ali mu kibiina kye ekya DP. Yasabye bannakibiina okulonda Kyagulanyi kyokka ebifo ebisigadde balonde abali ku kkaadi ya DP.
Kabanda agumizza aba DP nti obutawagira pulezidenti Mao tekigenda kunafuya kibiina ekyo kubanga ku mulundi guno ekibiina lwe kisimbyewo abantu abasinga obungi ku bifo by'obubaka bwa Palamenti okuva mu 1964 ekibiina bwe kyali mu bizibu nga bino ng'essira bagenda kuliteeka ku kuwanguza babaka okusobola okuzza ekibiina ku ntikko kubanga DP yali ebaddeko mu mayengo agasinga gano n'esigalawo nga ya maanyi.
Kabanda yeegasse ku Jude Mbabaali, ssentebe wa disitulikiti y'e Masaka eyavaayo n'awakanya ekya Mao okwesimbawo ng'agamba nti tekyakkaanyizibwako mu ttabamiruka w'ekibiina eyatudde e Gulu. Charles Kabanda eyeesimbyewo ku bwa Mmeeya yayambalidde be bavuganya nabo be yagambye nti tebalina mutima gw'a Masaka nga baagala kugikulembera bukulembezi kyokka nga tebalina kintu kya nkulaakulana kyonna kye bagasse ku Masaka nga bizinensi zonna bazizimbye Kampala ne Wakiso.
Aba NUP nga bakulembeddwa Mathias Mpuuga, Dr. Abed Bwanika akutte bbendera ku kifo kya Kimaanya - Kabonera, Florence Namayanja ayagala obwammeeya ne Juliet Nakabuye ayagala eky'omubaka omukazi baatongolezza kkampeyini mu kabuga k'e Kyabakuza gye baasabidde Bannamasaka okulonda abantu abalina obumanyirivu mu bukulembeze okuzimba ekibuga.