Wednesday, November 18, 2020

Kusasira bamuyise Gulu ku by'okufera abantu

Kusasira bamuyise Gulu ku by'okufera abantu

Catherine Kusasira yazze kipayoppayo okuva e Gulu gye yabadde ne Museveni okwewozaako ku bya ddiiru, abantu mwe baanyagiddwaako ssente eziri mu buwumbi butaano. Eggulo, Kusasira yagasimbaganye ne bambega ba Lt. Col. Edith Nakalema abaamusoyezza ebibuuzo n'okukola sitatimenti ku bigambibwa nti yali mu ddiiru omusumba Siraje Semanda ow'ekkanisa ya Revival Church e Bombo mwe yanyagira obuwumbi bwa ssente.

Pasita Siraje.

Siraje yali mu kkanisa ya Augustine Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu musango guno, Kusasira avunaanibwa ne Hilary Musoke eyakazibwako Kisanja nga Nakalema ababuuza ekyabatwala mu ddiiru eno egambibwa nti baagiyingiramu ng'abakozi mu ofiisi ya Pulezidenti.

Kigambibwa nti Kusasira yayogera eri abantu Siraje be yanyaga n'abategeeza nti ebintu byali bitambula bulungi kubanga naye yali abirimu ku lwa Pulezidenti. Ne Kisanja bamulumiriza nti yassa omukono ku biwandiiko, Siraje bye yakozesa okunyaga.

Era n'asisinkana abantu abaanyagibwa okuli abasumba abalokole, abantu baabulijjo ne bannannyini masomero be baasuubiza bbasale. Kigambibwa nti Kisanja yabakakasa nti ddiiru yali ntuufu era Museveni byonna abimanyi era ye yali amuwadde abaserikale abaali bamukuuma. Kisanja muwabuzi wa Pulezidenti ku by'abavubuka n'okukunga abantu. Kusasira muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala.

Museveni ali e Gulu mu kampeyini ne Kusasira gye yabadde, era eno ebbaluwa ya Nakalema gye yamusanze ng'emulagira yeeyanjule mangu oba ye Nakalema amunone. Kigambibwa nti Kusasira yasuze mu kkubo ng'atambula n'asobola okweyanjula ku makya ewa Nakalema eggulo (Lwakubiri).

Siraje yavunaaniddwa emisango 17 egy'okunyaga ssente ku bantu ng'asuubizza okuwa abaana b'amasomero bbasale, okutwala abantu e South Africa ne Yisirayiri okulambula, okufunira obuyambi abalwadde ba siriimu, okufunira obuyambi abakazi abaalekebwawo abasajja, okuzimbira abasumba amakanisa n'okufunira abantu ensigo n'ebintu ebirala okuva mu Operation Wealth Creation.

Ssente ze yabaggyako okubakolera ku nsonga zaabwe ziwera obuwumbi butaano (akawumbi kalimu obukadde 1,000). Kusasira ne Kisanja boolekedde okuggulwako emisango ebiri ogw'okukozesa obubi ofiisi n'okwekobaana ne Siraje okunyaga abantu nga Kusasira ne Kisanja babakakasa nti bye bakola bimanyiddwa Pulezidenti.

Ssinga obujulizi bunaakakasa nga Kusasira ne Kisanja balina omusango boolekedde okuyimirizibwa okukolera Pulezidenti. Abalala abavunaanibwa mu ddiiru eno kuliko; Nabbi Omukazi (Maggie Kayima) ne muganda we Benah Namisinga muka Siraje Semanda. Bonsatule baakwatiddwa ku Ssande e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania nga kigambibwa nti baabadde badduka. Mu sitatimenti gye yakoze, Nabbi omukazi yeeyogeddeko nti nnamwandu wa Yiga (Abizzaayo) e Kawaala.

Nabbi Omukazi yali muka Yiga ne baawukana. Yiga yafa omwezi oguwedde. Abalala abali mu ddiiru kuliko Pasita Mondo Mugisha naye eyeeyanjudde wa Nakalema eggulo n'akola sitatimenti. Omusango yaguyingiddemu ng'abadde akola ne Siraje era ye muwi w'amagezi mu kibiina kya Hands Across The World Initiative Uganda ekikulirwa Siraje.

Ekibiina kino Siraje mw'ayita okugaba obuyambi. Abalala abali ku musango ye ACP Godfrey Mate eyakozesebwa ng'akulira ebyokwerinda ewa Siraje. Era yayogera mu lukiiko lw'abasumba okubakakasa nti tewali ayinza kubabba kubanga poliisi ensonga ezirimu.

Mu lukiiko luno olwatuula nga December 31, 2019 ku kkanisa ya Siraje e Bombo, Kusasira yalwogereramu n'abakakasa bwe Kusasira bamuyise Gulu ku by'okufera abantu watali ayinza kubabba kubanga Pulezidenti ekintu akirimu era Kusasira gwe yali akiikiridde. Kyategeerekese nti omusmba Mondo yategeezezza bambega nti Siraje yamuyita kubuulira njiri eri abasumba bano era gwe mulimu gw'abadde akolayo.

Mu sitetimenti ya Mondo kigambibwa nti yeegaanyi okubaako n'enkolagana mu bya ssente ne Siraje kyokka abasumba balumiriza nti Mondo ye yali yeebuzibwako mu kibiina era Siraje yamubanjulira bwatyo ekitegeeza nti yali amanyi buli ekigenda mu maaso.

Ku bantu Siraje b'addukanya nabo ekibiina yategeeza nga Mondo bw'ali ku bakulu era abasumba bagamba nti olumu yaleeta Abazungu be yagamba nti bavudde Yisirayiri. Abasumba era balumiriza nti Mondo olumu yabategeeza nti Abazungu baali badduse mu kintu kyokka n'abakomyawo era beetegefu okugenda mu maaso n'ekibiina.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts