
HAJJATI Rehema Watongola abadde omubaka wa munisipaali y'e Kamuli yaziikiddwa ne balaga ow'okumuddira mu bigere.
Minisita omubeezi ow'ebyobulamu, Robina Nabbanja yategeezezza nti, Watongola yafudde Corona kyokka kino, bba Hajji Badru Watongola n'akiwakanya ng'amba nti, bamafiya mu Gavumenti be basse mukazi we.
Hajji Watongola yawagiddwa bannabyabufuzi abaakulembeddwa ssentebe wa disitulikiti y'e Kamuli, Thomas Kategere okuwakanya enfa y'omugenzi.
"Twali nze Kategere, Omubaka Moses Kizige n'omubaka Isaac Musumba, Hajjati Watongola n'atutegeeza nti waliwo eyali amulabudde okwegendereza ebintu by'alya, tewaayise na myezi ebiri afudde mu nfa gye tutategeera." Kategere bwe yategeezezza.
Mutabani w'omugenzi, Derick Kasadha yagambye nti obulwadde obwasse nnyina bwamukwatira mu lumbe lwa mwannyina, Sam Mubi Aliwo eyafa wiiki emu eyise era agamba yavuga nnyina n'amutwala mu ddwaaliro ekkulu e Jinja ne bamukebera wabula obulwadde ne bubula ne bakebera ne Corona nga tamulina.
"Nneewuunya mu kaseera kano Gavumenti okulangirira nga mmange bwe yafudde Corona ate nga ne bwe twatuuka e Mulago baamukebera nga talina bulwadde buno." Kasadha bwe yategeezezza.
Yaziikiddwa nga bagoberera amateeka ga Corona era abantu munaana bokka be bakkiriziddwa okutuuka ku ntaana wadde nga enkuyanja y'abantu omwabadde bannabyabufuzi, abakulembeze b'eddiini n'abakungu okuva mu Bwakyabazinga yeeyiye ku kyalo Butende-Kitayundwa e Kamuli gye yaziikiddwa.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Uganda, Gen. Moses Ali ye yakiikiridde Gavumenti. Oluvannyuma baalaze agenda okusikira Hajjati Watongola mu byobufuzi nga ye Baloodha Kayaga, n'asaba akakiiko k'ebyokulonda kakkirize okuddamu okuwandiisa abanaavuganya ku ky'omubaka wa munisipaali y'e Kamuli.
Ababaka abava mu Busoga beekuhhaanyizzaamu amabugo ga bukadde 10 ezaatwaliddwa ssentebe waabwe, Moses Balyeku ne zikwasibwa abaffamire.
Pulezidenti Museveni yakubirizza abantu okwongera okwekuuma obulwadde bwa Corona n'avumirira ne bannabyabufuzi abakuba enkuhhaana mu bubaka bwe yatisse Minisita Esther Mbayo.
Watongola we yafiiridde, yabadde ateekateeka kuyingira ennyumba ye amatiribona gy'abadde azimbye e Butende.