ABALUNNYANJA ku mwalo gw'e Buwunga mu ggombolola y'e Mpatta mu disitulikiti
y'e Mukono baguddemu entiisa maama bw'akutte muwala we ow'emyaka 2 ne yeekasuka mu nnyanja bonna ne bafiirawo.
Sylvia Nakyejwe 26, abadde yaakasega ku mwalo guno oluvannyuma lw'okunoba
e Nansana mu Wakiso gy'abadde abeera, okusinziira ku batuuze bagamba nti, omugenzi baakomye kumulabako mu kiro ekyakeesezza ku Lwokuna ng'ali mu bbaala ng'atamidde. Bazzeemu okuwulira nga yesse.
Geoffrey Byakatonda omu ku batuuze ategeezezza ng'omugenzi bw'abadde yaakasega ku mwalo guno era nga tabadde na buzibu bwonna na muntu.
Stephen Alyobe nga ye ssentebe w'omwalo guno agambye nti, embeera eno ebadde tebatuukangako mu kitundu kyabwe n'asaba abakyala bonna ababeera bafunye obuzibu okugendanga ewa nnaabakyala okufuna okubudaabudibwa.
Poliisi okuva e Mpatta yazze n'etegeeragana n'abazadde b'omugenzi n'ebawa
emirambo okugenda okuziika.
Saturday, November 7, 2020
Maama yeesudde mu nnyanja ne muwala we ow'emyaka 2
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...