
OMUYIMBI Catherine Kusasira ne Pasita Mugisha Mondo ku Lwokubiri baakedde kweyanjula mu kakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema akaatekebwawo Pulezidenti Museveni okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi.
Bano baayitiddwa okukola sitatimenti ku bigambibwa nti beekobaana n'omusumba Siraje Ssemanda owa Revival Church e Bombo eyakwatiddwa n'asindikibwa mu kkomera e Kitalya lwa kufera basumba ne bannannyini masomero ssente ezisoba mu buwumbi 4.
Nga tebanagenda mu kakiiko, bano bombi basoose kwegaana okuba n'enkolagana yonna ne Passita Siraje era Kusasira bwe yabadde ayogera ne Bukedde yatuuse n'okumuyita omusajja omufere.
Paasita Siraje bamukwatidde ku nsalo ya Uganda ne Tanzania e Mutukula nga kigambibwa nti yabadde adduka mu ggwanga oluvannyuma lw'okukitegeerako nti abadde anoonyezebwa ku misango gy'okufera abantu abasoba mu 400.