MUKYALA wa Kakooza Mutale afudde kibwatukira n'aleka aba famire n'emikwano mu kiyongobero.
Louise Nakawunde Mutale 70, omutuuze w'e Ssekannyonyi mu muluka gw'e Mpereerwe mu munisipaali y'e Kawempe yakubiddwa puleesa ku Mmande eyamuviiriddeko okufa, Nakawunde abadde musawo ng'abadde n'eddwaaliro erya Nang'anda Clinic e Ssekannyonyi ng'abadde Mukristaayo mu kkanisa ya S.t Luke Church Of Uganda e Mpereerwe.
Victoria Nabasumba 42, muwala wa Kakooza Mutale omukulu yategeezezza nti nnyaabwe yabadde mukyala mukulu ng'abadde n'abaana basatu.
Yayongeddeko nti aludde ng'alumizibwa ekirwadde ky'omutima ne puleesa eyamukubye ku Ssande ekiro nga kitaabwe abadde takyabeerewo ng'olwamaze okufa Mutale yasindise ambyulensi y'e Mulago n'etwala omulambo mu ggwanika.
Yagasseeko nti Nakawunde abadde musawo okumala emyaka 40 n'omusobyo.
Yaziikiddwa ku kyalo Ttanda mu Disitulikiti y'e Mityana.
Henry Ssejjemba, ssentebe wa LC Ssekannyonyi yategeezezza nti Nakawunde abadde mumalirivu mu buli ky'akola ng'abadde ajjanjaba abantu ng'okusinga baana okuva mu bitundu okuli Nammere, Ssekati, Kiteezi, Komamboga n'ebirala.
Tuesday, November 3, 2020
Mukyala wa Maj. Kakooza Mutale aziikiddwa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...