Tuesday, November 3, 2020

Katumba ne Kalembe bakyawera

Katumba ne Kalembe bakyawera

JOHN Katumba bwe yasanze emisanvu e Nakawa, kwe kubuuka mu mmotoka ye n'adduka asobole okutuuka mu budde okwewandiisa. Kyokka emisinde gye yatebense gyamumenyedde bwereere akakiiko bwe kaamugobye.

Katumba.

Entabwe yavudde ku Katumba butalaga lisiiti ya bbanka ey'obukadde 20 kyokka n'abategeeza nti azirina mu kkaasi kubanga mu bbanka baasabye TIN nga tagirina olw'okuba yaakamaliriza emisomo ku yunivasite. Baamusabye addeyo yeetereeze. Ebyatuuse ku Katumba bye bimu ne ku Nancy Kalembe, nga naye taleese lisiiti ekakaksa nti yasasudde obukadde 20.

Akulira enteekateeka z'okulonda Umar Luyimbaazi yasoose kukwata mpapula za Kalembe n'azitwala ewa ssentebe w'akakiiko Omulamuzi Simon Byabakama kyokka bwe yazeekenneenyezza nga kuliko ebibulamu.

Kalembe yategeezezza nti waabaddewo okulwawo okusasula mu bbaka naye bazzeeyo batereeze empapula bakomewo. Kalembe yasomera Makerere, yavuganya mu bwa Miss Uganda mu 2003, yakolerako ku Radio Sanyu, n'asoma amawulire ku UTV kati UBC.

NZIRAYO MU KAKIIKO - KALEMBE                                                                                                                                                                  Kalembe yategeezezza bannanawulire e Kyambogo nti agenda kuddayo mu kakiiko olwaleero ng'amaze okusasula asobole okwewandiisa. Ate Katumba yagambye nti agenda kuddamu annyonnyole abaakakiiko bakkirize obukadde 20 mu kkaasi kubanga ye talina ssuubi lyakufuna TIN mu kiseera kino.

Abakyala abalala byabasobedde ng'akakiiko tekatadde mannya gabwe ku lukalala lw'abalina okususnsulwa ku Mmande era baakedde kuzinda kitebe ky'akakiiko. Dr. Elizabeth Lugudde Nabatanzi ng'ali n'abalala bataano yagambye nti akakiiko yakawa emikono gy'abantu abamusemba 35,000 wabula abaakakiiko agasinga obungi ne bagagaana kwe kusalawo okubatwalira emikono emirala 60,000 kyokka tebaamusunsudde.

Yagambye nti kasita bamaliriza okusunsula ng'erinnya lye teririiko agenda mu kkooti.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts