Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alagidde okuteeka essira ku kuyigiriza abaana n'abavubuka obukulu bw'okukuuma obutonde bw'ensi. Yabadde ku Bulenge e Mmengo ku Lwokuna ekibinja kya Bannalotale bwe kyabadde kimukyalidde.
"Mu mukago guno tulina okussaamu kaweefube w'okusomesa abaana abato n'abavubuka engeri gye tuyinza okutaasa obutonde bw'ensi mu ngeri ennyangu. Twetaaga okuyigiriza abaana abato n'abavubuka akabi akali mu kutema emiti oba omugaso oguli mu kusimba emiti, akabi akali mu kulimira mu ntobazzi n'okuzikoleramu ebintu ebizinunamu amazzi," Mayiga bwe yategezezza.
Katikkiro yakulisizza Rosette Nabbumba okulondebwa ku bwapulezidenti bwa disitulikiti ya lotale eyitibwa 9211 ng'ezingiramu Uganda ne Tanzania n'agamba nti buno buwanguzi bukulu eri abakyala abaakamala emyaka 30 mu nteekateeka za lotale mu nsi yonna.
Hajj Ahmed Lwasa -Omumyuka w'omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda nga ye Ssentebe w'olukiiko olukwanaganya lotale n'Obwakabaka yategeezezza nti okuva mu 2018 Kabaka lwe yalagira okubeerawo omukago, bingi ebikoleddwa okuli okuwa obujjanjabi eri abantu 10,000, okusimba emiti n'ebirala.
Nabbumba yayanjulidde Katikkiro akakiiko ka lotale akagenda okukola emirimu n'Obwakabaka okuli: Phyllis Kwesiga, Jjooga Ssebukulu, Jane Kabugo, Elizabeth Ssempeebwa, Jimmy Sserugo ne David Nsubuga.
Yagambye nti omwaka guno bakubiriza abantu okufaayo ku ndya n'enkuuma y'omubiri ennungi wamu n'enteekateeka eyitibwa Rotary Roses Programme egendereddwamu okuyingiza abakyala mu nsonga z'obukulembeze ssaako abavubuka nabo okwenyigira mu mirimu gya lotale." Omukolo gwetabiddwaako abakungu ba Buganda ab'enjawulo.