Friday, November 20, 2020

Ono essasi lyamusanze waka

Ono essasi lyamusanze waka

CHRISTINE Zawedde 58, omutuuze mu zooni ya Kweba e Mutundwe mu munisipaali y'e Lubaga y'omu ku baakubiddwa essasi mu kwekalakaasa okwabaddewo ku Lwokusatu n'afi irawo.

Zawedde essasi lyamusanze waka mu luggya, era be yabadde nabo baawulidde kintu kibwatuka, nga naye agudde obwongo ne busaasaana buli wano we baategeeredde nti essasi limukubye.

Baabezezzaako okumuyoolayoola bamutwale mu ddwaaliro naye yabadde amaze okufa. OMUVUBUKA ku kyalo Kasasa abadde amanyiddwa nga Mulongo Wasswa naye akubiddwa amasasi abakuumaddembe n'afa.

Abaabaddewo bagamba nti Wasswa teyabadde mu byakwekalakaasa, wabula bwe yalabye abakuumaddembe kwe kwe kweka mu saluuni, abaserikale gye baamuggye ne bamukuba amasasi

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts