NNAMWANDU wa Idi Amin eyali Pulezidenti wa Uganda akaabidde mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu bw'atutteyo okwemulugunya kwe ng'agamba nti emmaali ya bba omuli ebizimbe n'ettaka abakungu ba Gavumenti babyekomezza.
Hajati Nnaalongo Madiina Namboowa Amin yaloopye nti n'obuyambi obulagirwa mu tteeka okuweebwa eyaliko mukyala wa Pulezidenti w'eggwanga nabwo baabumumma. Ku Lwokuna, Namboowa yakedde ku kakiiko k'eddembe ly'obuntu ng'ali ne munnamateeka we Ssaalongo Erias Lukwago.
Hajati Namboowa yagambye nti yazaala abaana mu Idi Amin bataano okuli n'abalongo. Buli obwedda lw'ayogera erinnya lya bba, ng'amaziga gamuyitamu. Yajjukidde engeri bba gye yafi ira mu buwaηηanguse n'atuukirira Pulezidenti Museveni n'amusaba akomyewo omulambo naye tekyasoboka.
Yagambye nti wadde omulambo gwa Amin tegwakomezebwawo, Gavumenti yamukakasa nti byonna ebyobugagga bya famire bagenda kubimuddiza era nti abaana bakomewo.
EBYOBUGAGGA BYA AMIN BYE BAAGALA BIBADDIRE Hajati Madiina Namboowa yamenye ebyobugagga by'ayagala bamuddize okuli; Amaka ag'ebbeeyi agasangibwa e Kololo ku poloti 10, Amayumba agali e Kawempe n'e Wandegeya, amayumba agasangibwa mu Arua ng'eno waliyo n'ettaka Gavumenti lye yatwala ng'egenda kulizimbako ekisaawe ky'ennyonyi.
Kyokka yalaze nti ebimu ku by'obugagga bya bba, abamu ku ba famire baabitunda mu bukyamu era amaze emyaka ng'asaba bimuddizibwe naye abakungu ba Gavumenti babiremedde. Yagambye nti asisinkanye Pulezidenti Museveni enfunda eziwera ng'ensonga azikwasa bannamateeka mu maka g'Obwapulezidenti kyokka tawulira kivaayo. Yategeezezza nti buli ky'ayogerako akirinako ebiwandiiko ebikakasa obwannannyini.
LUKWAGO ANNYONNYODDE Erias Lukwago, munnamateeka wa Namboowa yategeezezza nti amateeka gakkiriza nnamwandu w'eyaliko pulezidenti w'eggwanga okuweebwanga ssente 800,000/- buli mwezi. Amateeka galagira okumufunira abakozi babiri, okumuwa obukuumi (abaserikale), okumusasulira ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo kyokka Namboowa tabifuna. Lukwago yategeezezza nti ensimbi 800,000/- Namboowa yazifunako omulundi gumu gwokka.
Lukwago yagambye nti Madiina Namboowa Amin yamusaba amuyambe anunule ebyobugagga bya bba nga munnamateeka era n'akkiriza. "Tutandikidde mu kakiiko ka ddembe lya buntu oluvannyuma tugende mu kkooti ne mu palamenti okutuusa nga Namboowa afunye obwen