Sunday, November 15, 2020

Bawanjagidde Muyanja Ssenyonga ku bajaasi ababatulugunya

Bawanjagidde Muyanja Ssenyonga ku bajaasi ababatulugunya

ABAVUBI mu ggombolola y'e Mpatta abaliraanye ennyanja balaajanidde omubaka Johnson Muyanja Ssenyonya nti bw'addayo mu Palamenti, ayongere amaanyi okubateeseza, Gavumenti ebakolere ku bannamagye ababakuba emiggo n'okuboonoonera amaato ag'obuwanana bw'ensimbi.

Omubaka Ssenyonga ku Lwokubiri yasiibye atalaaga ebyalo bino okwabadde Kisinsi, Buzindeere, Busoke, ne Mubanda bwe yabadde anoonya akalulu n'abasaba okumuzzaayo mu Palamenti asobole okubakolera kw'ebyo by'abadde tannamaliriza mu kisanja kye ekigenda okuggwaako.

Ssentebe w'ekyalo Kisinsi, Tonny Ssempijja yalaze okutya kwe balimu olw'enjala eyolekedde okubattira mu mayumba olwa ab'amagye obutabakkiriza kugenda ku mazzi okuvuba wadde emisana kyokka nga mu kiseera kye kimu n'ebirime byabwe byalumbibwa akawuka akatannategeerekeka akabyonoona nga byakassa, ekibaleetera okufiirwa emisiri gy'ebirime byabwe. "Pulezidenti Museveni yatugamba nti abaserikale bazze kukuuma ba nvuba mbi naye baava dda ku mirimu gyabwe.

Tukusaba omubaka otutuusize ensonga yaffe mu Palamenti kubanga tetukyalina mirimu gye tukola kyokka nga gwe mulimu ogutuyimirizaawo okulabirira ffamire zaffe," Ssempijja bwe yagambye. Ono era yawanjagidde n'abavunaanyizibwa ku by'obulimi okubadduukirira n'eddagala eriyinza okutta akawuka akasaanyaawo ebirime byabwe, n'asaba omubaka okubakolera ku ssomero erya Siniya, okubafunira amazzi amayonjo, nga kw'ogasse n'amasannyalaze.

Mu kubaanukula, omubaka Muyanja yabasabye okukomya ensonga ey'okweryamu enkwe olw'ensonga nti bannaabwe abamu be babawaayo eri abaamagye ne ku nsonga ezitaliimu, ekireetera ab'amagye okubeekengera ne babayisa mu mbeera bw'etyo. Yabasabye okugondera amateeka gonna agassibwa ku nnyanja okwewala okutulugunyizibwa.

Muyanja Ssenyonga yabasabye okumuwagira olw'ebyo ebirabikako by'abakoledde omuli, okubakolera ku byenjigiriza, ebyobulamu n'ebirala eby'enjawulo era nga ku mulundi guno yabasuubizza okulafuubana okukyusa mu tteeka ly'ebyenvuba.

Yasabye abakyala obutakkiriza baami baabwe kubasalirawo bantu ba kulonda n'abasaba okulonda abo bokka abalina obusobozi obunaabakolera bye baagala era n'abasuubiza okubakolera ku bye bamusabye ssinga anaaba awangudde akalulu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts