Bya Patrick Kibirango ne Ponsiano Nsimbi.
Amagye gayiiriddwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo okugumbulula abantu ababadde batandise okwekalakaasa n'okukola effujjo nga bookya ebipiira n'okwonoona ebintu. Embeera bweti bw'ebadde mu bitundu eby'enjawulo.
(Ebif. Bya Patrick Kibirango ne Ponsiano Nsimbi)
Kiddiridde poliisi okukwata Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine avuganya ku bwapulezidenti ne bamutwala mu kaduukulu e Nalufenya gyakuumirwa.
Effujjo lino libadde ku Nasser Road mu Kampala, ku kibangirizi kya Ssemateeka, ewa Kisekka, e Kireka n'ebitundu ebirala. Waliwo abakubiddwa amasasi n'abakubiddwa era abantu bali mu ddukadduka. Waliwo n'emmotoka y'omuwagizi wa NRM eyayonooneddwa.