Wednesday, November 18, 2020

Kusasira ne Kisanja bawonye okusula mu nkomyo

Kusasira ne Kisanja bawonye okusula mu nkomyo

Catherine Kusasira yawonye okusula mu kkomera, bwe yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.  Oluvannyuma lw'essaawa ezaasobye mu 10 nga bakunyizibwa n'okubuuzibwa akana n'akatano  ku nsonga z'omusumba Siraje Ssemanda owa Revival Church e Bombo agambibwa okufera basumba banne ne bannannyini masomero ssente ezisoba mu buwumbi 4, baamaze ne bamuyimbula.

Kisanja

Ye omusumba Siraje baamusindise mu kkomera e Kitalya oluvannyuma lw'okusimbibwa mu kkooti. Catherine Kusasira omuyimbi era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala ne Dr. Hilary Musoke Kisanja omukunzi w'abavubuka mu ofiisi ya Pulezidenti baayimbuddwa poliisi ku kakalu kayo akawungezi k'Olwokubiri.

Kusasira ng'ali wamu ne Pasita Mondo Mugisha, ku Lwokubiri baakeera kweyanjula mu kakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema akaatekebwawo Pulezidenti Museveni okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi. Wadde Kusasira ayimbuddwa ye Pasita Mondo abasirikale bamusigazza nga bagamba bakyamunoonyerezako.

Ate ye omujaasi Robert Rwakandere nga naye akola mu ofiisi ya Pulezidenti ono baamukwasizza ab'amagye be baba bamunoonyerezaako. Muky. Nakalema ategeezezza nti okwawuukanako n'abalala aboogerwako mu nsonga zino ye  Kusasira ne Musoke wadde baayitiddwa okukola sitatimenti, tewali abalumiriza okwenyigira obutereevu mu kuggya ssente ku bantu wabula eky'ogerwako y'engeri gye bakozesaamu woofiisi zaabwe era okunoonyereza ku nsonga zino kugenda mu maaso kyokka kuyinza okutwala ebbanga kubanga kyetaagisa n'okwogera ne bakama baabwe n'abalala be kikwatako okuzuula ekituufu.

Kusasira gwe twogedde naye ku ssimu nga baakamala okumuyimbula asoose kwebaza Katonda oluvannyuma n'ategeeza ng'amazima mu nsonga zino bwe gagenda okweyoleka.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts