Ekirwadde kya COVID 19 bwe kyatusalako, munnakatemba era omwogezi w'oku mikolo, Joseph Ssendagire amanyiddwa nga Muzeeyi Bakiddaawo y'omu ku baakosebwa era mu njogera ennyangu abadde ku katebe.
Baamuwummuza ku mulimu gye yali akola ku leediyo emu e Lubaga ate n'emikolo gy'embaga n'okwanjula wamu n'ebidongo mwe yali ayoola akasente ne babiyimiriza. Mu myezi egyasooka embeera yamunyiga ng'abantu abalala era ebbanga lye yamala awaka kyamuyamba okuggula obwongo n'okwezuula.
Ono engeri gye yalina obudde obungi ne mukyala we Vivien Naggayi, baafuna ekirowoozo ky'okutandikawo kkampuni ekola emigaati gye baali bagenda okuteeka mu bitundu by'e Kasangati. Bwe beebuuza ku mukwano gwabwe naye akola emigaati n'ababaliramu, baagenda okulaba nga ssente ze balina ntono nnyo okusinziira ku zeetaagibwa.
Eyo ddiiru baagibuukamu ne babasomera ey'okukola omwenge era w'osomera bino ng'eno etambula bukwaku. Muzeeyi Bakiddaawo twamuguddeko ku Lwokutaano mu bitundu by'e Lungujja ng'ali mu keetalo k'okuteekateeka ekkolero lye erisogola omwenge. Yatugambye nti ebintu ebisinga bamaze okubiteekawo ng'essaawa yonna agenda kutandika okuweereza abantu.
Yategeezezza nti okusinziira ku kyayiseemu mu biseera by'omuggalo, takyayagala nnyo kumukozesa nga kati ayagala kutambuza bizinensi ze n'okuyamba abo abalozezza ku mbeera gyabaddemu ng'abawa emirimu.