Wednesday, November 18, 2020

Omusumba Jjumba atonzeewo ebigo ebipya 7

Omusumba Jjumba atonzeewo ebigo ebipya 7

OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka Serverus Jjumba alangiridde ebigo ebiggya musanvu mu ssaza ly'e Masaka olwo essaza eribadde n'ebigo 56 kati biweze 63. Omusumba Jjumba yasuumusizza ebisomesa bino ne bifuuka ebigo ebijjuvu.

Mu byasuumusiddwa kuliko; ekisomesa ky'e Sserinnya nga kyakutuddwa ku kigo ky'e Kyansi mu disitulikiti y'e Bukomansimbi. Kino kyagattiddwaako ebisomesa okuli; Kyakatebe ne Kanoni ebyakutuddwa ku kigo ky'e Villamaria ne Kawoko - Kikaawa, Kibanda, Gayaza ne Makoomi ebyakutuddwa ku Kyansi.

Ekigo ekirala ekyalangiriddwa kuliko Mateete mu disitulikiti y'e Ssembabule. Kino kirimu ebisomesa okuli; Mateete, Nakasenyi, Kyabwama, Nyanga, Lwamatengo ne Bituntu ebyakutuddwa ku Katimba.

Omusumba Jjumba yalagidde bino ebibiri bitandike okukola kubanga birina ebisaanyizo ate nga birudde nga byetegeka okufuuka ebigo. Wabula yategeezezza nti, bamwanamukulu abagenda okusindikibwa mu bigo bino bagenda kusooka kubeera mu kigo gye bavudde okutuusa ng'ab'ekigo ekipya bamaze okukola enteekateeka emala okusuza Faaza.

Omusumba Jjumba yalagidde Faaza anaaweerezebwa mu kigo ky'e Sserinnya okusooka okusulanga e Villamaria okugenda okuweereza ate ow'e Mateete waakusooka kuvanga Katimba okugenda e Mateete okuweereza.

Okusinziira kw'akulira ebyamawulire mu ssaza ly'e Masaka, Fr. Ronald Mayanja, Omusumba yalagidde ebisomesa okuli; Katwe ne Kyeera mu disitulikiti y'e Ssembabule, Kisojjo mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Bbuuliro mu disitulikiti y'e Masaka, Bukasa mu disitulikiti y'e Kalangala nabyo biteekebweteekebwe bifuuke ebigo ebyetengeredde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts