FRANK Baguma 28, omutuuze w'e Kabowa yasibyewo edduuka lya sipeeya mw'abadde akola mu Ndeeba, n'adda ku kkubo okulaba abookya ebipiira mu kwekalakaasa.
Wano essasi we lyamukwatidde ku mutwe, obwongo ne buyiika. Abaabaddewo baagezezzaako okumuddusa mu ddwaaliro e Lubaga wabula we baamutuusirizza ng'afudde. Baguma abadde atunda sipeeya wa mmotoka nga mutuuze w'e Kabowa.