Sunday, November 1, 2020

Poliisi ekozesezza kkamera n'ekwata owa boda eyabba omusaabaze

POLIISI yeeyambisizza kkamera zaayo n'ekwata owa bodaboda eyeefuulidde omusaabaze eyamupangisizza n'amubbako ensawo omwabadde ebintu bye eby'omuwendo.

Musa Nsubuga omutuuze w'e Kazo mu Central zzooni I yakwatiddwa abapoliisi ya CPS oluvannyuma lw'omusaabaze eyamupangisa okuva e Bugoloobi okumuleeta mu kibuga ku kizimbe kya Greenland okuli Cairo Bank nga October 21, 2020 n'amubbako ensawo omwali ebintu bye.

Omuvubuka eyakwatiddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti nga October 21, 2020, Sylvester Alewi akola ogw'obusawo yapangisa Nsubuga avuga ppikipiki nnamba UEW 222H okuva e Bugoloobi okumuleeta mu kibuga Kampala nga bakkaanyizza 2,000/-.

Yagambye nti olwatuuka mu kibuga, Alewi yawa Nsubuga 20,000/- aggyeko ssente ze wabula n'amutegeeza nga bwe zeetaaga okuvungisa era Alewi n'amulekera ensawo ye omwali ebintu eby'omugaso okusobola okuzivungisa wabula yakomawo nga Nsubuga agenze. "Tuliko omugoba wa bodaboda gwe tukutte eyabulawo n'ensawo y'omusaabaze era poliisi bwe yafuna okwemulugunya n'etandika okunoonya okutuusa lwe yakwatiddwa," Onyango bwe yategeezezza.

Yagambye nti mu kunoonyereza kuno, poliisi yasoose kwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera zaayo ez'oku luguudo n'esobola okufuna nnamba puleeti ya ppikipiki n'ekitundu Nsubuga gy'abeera kuba kyazuuliddwa nti talina siteegi ya nkalakkalira kw'akolera.

 

Onyango nga yeekebejja ebintu Nsubuga bye yali abbye ku musaabaze eyamupangisa okumuleeta mu Kampala.

Yategeezezza nti abaserikale abanoonyereza nga October 28, 2020 baalondodde Nsubuga nga beeyambisa kkamera ne bamukwatira e Kibuye ku luguudo lw'e Salaama wabula n'asooka okwekaza nti bamukwatidde bwereere okutuusa lwe baamubuulidde omusango gwe yazza. Yagambye nti Nsubuga okuva lwe yabba ensawo eno abadde takyeyunira mu Kampala nga bwe yabba nga October 21, 2020 yaddamu okulabika nga October 26 ne lwe yakwatiddwa nga October 28, 2020.

Nsubuga baamubuuzizza ebikwata ku nsawo y'omusaabaze n'ebintu ebyalimu omuli ekyuma ekikozesebwa okwekebejja abalwadde ne laptop n'ebiwandiiko ebirala, yabuulidde abaserikale nga laptop bwe yagisinga ew'omuntu n'amuwola ssente. Nsubuga era yabuulidde abaserikale nti ekyuma ekikozesebwa okwekebejja abalwadde kyamulema okutunda kuba abantu bonna be yakitwalira nga bamubuuza engeri gye kikolamu n'alemwa okubannyonnyola.

Onyango yagambye nti poliisi yazudde ensawo n'ebintu byonna ebyalimu n'okubatwala laptop gye yali agisinze n'aggalirwa mu kaduukulu ka poliisi ya CPS oluvannyuma lw'okumuggulako omusango oguli ku fayiro SD: 22/21/10/2020.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts