Monday, November 30, 2020

Zimba ennyumba ng'okozesa ebyuma okekkereze ssente

Zimba ennyumba ng'okozesa ebyuma okekkereze ssente

OKWETOOLOOLA ensi  yonna okugula ettaka n'okuzimba kufuuse kwa buseere. Ye bwe byegasseemu ekirwadde kya COVID 19 ekirese bangi nga tebalina mirimu, bizinensi zifudde ng'ate n'ebizimbisibwa bya buseere ne gujabagira. 

Bw'ozimbisa ebyuma teweetaaga kukiika bbulooka.

Bulijjo nga tumalako omwaka n'okuyingira omupya, abantu bangi batuula ne bayitaayita mu bye baalina okukola oba bye balina okukola omwaka oguddako ng'ekisooka ku lukalala kuba kuzimba nnyumba bawone obupangisa oba okuzimba ennyumba mwe bafuna akasente.

Bo abali ku kyeyo batera okukomawo oba okuweereza ssente babazimbire amayumba basobole okudda kuno nga tebasula mu mizigo. Naye olw'ekirwadde kya COVID -19 muyite ssennyiga omukambwe, bangi balemereddwa okutuukiriza ebirooto byabwe era n'omwaka 2021 bandibeera mu ddukadduka w'aba Landiroodi.

Kalina gye bazimbisizza ebyuma.

Wabula Yusufu Kazibwe nnannyini  kkampuni ya Nana Corp Ltd asabye Bannayuganda abali kuno n'ebweru w'eggwanga okweyunira enzimba ekekkereza balwanyisa obupangisa n'okuteekawo amayumba aganaabayamba mu bukadde oba okubataasa mu mbeera enzibu ng'eno eya COVID 19 gye tubaddemu.   

Agamba nti enzimba eno bakozesa ebyuma bya Steel ebya IBM n'embaawo. Wadde nayo yeetaaga ssente, teziba nnyingi bw'ogigeraageranya n'enzimba eyaffe eya bulijjo. Bagikozesa nga bazimba ennyumba za bbangalo, kalina, ennyumba z'abapangisa n'ebintu ebirala nga ‘ware house' omuterekebwa ebintu ku ssente entonotono.

Abazimbi ba Kazibwe nga basimba n'okwokya ebyuma.

EMIGASO GY'ENZIMBA ENO                                                                                                                                                                    Kazibwe eyasangiddwa mu bitundu by'e Namugongo ku sayiti emu yategeezezza nti bw'ozimbisa ebyuma bya IBM, okozesa ssente ntono mu kuyiwa enkokoto ne kolomu naddala ng'ozimba kalina era okekkereza ebitundu 40 ku 100 ku ssente ze wandibadde osaasaanya. Kwe kutegeeza nti COVID ne bw'aba akosezza bizinensi yo, osobola okuggyamu ssente mpolampola n'ozimba ennyumba ng'ate ne bizinensi n'esigala ng'etambula.

Ggwe azimba kalina, teweetaaga kugula bintu nga makisipaani, embaawo, emisumaali, emiti ne seminti omungi ng'oyiwa siraabu ya kalina engeri gye bakozesa ebyuma bya IBM. Kyokka bw'oba ozimba ng'okozesa enkola enkadde, ebintu bino olina okuba nabyo mu bungi. Eno enzimba etwala obudde butono okusinziira ku ya bulijjo gy'olina okuwummulamu enkokoto n'ebisenge okuguma.

Yusufu Kazibwe.

Wano osooka kusimba byuma ebiwanirira buli kimu okuviira ddala mu musingi ng'ate okekkereza. Ggwe ava ku kyeyo ogyetaaga kubanga etwala obudde butono era oyinza okuddayo ng'ennyumba yo ewedde n'owona abantu okukubba. Ekendeeza ku buzito bw'ekizimbe ne ssente. Wano okekkereza ebitundu 35 ku 100 bw'ogeraageranya ku nzimba enkadde.

Enkola eno oyinza okuzimba kalina zonna z'oyagala olw'ebyuma okuwewuka nga bw'olaba mu nsi z'ebweru kubanga be baana baliyo. Okozesa bbulooka ntono okugatta ebisenge bw'ogeraageranya ku kalina eya bulijjo gye bazimba ng'ozikiika okusobola okuwanirira obuzito bwa siraabu eyiibwako waggulu.

Enzimba y'omusingi: Mu nkola enkadde, olina okusima ebinnya ebinene, okusimba emitayimbwa eminene n'okuyiwa enkokoto okuwanirira bbulooka n'ebintu ebirala ebingi by'okozesa waggulu n'okunyweza kkolomu.   Wabula mu nkola y'okukozesa ebyuma bya IBM,  omusingi tegubeera munene   era ekizimbe tekibeera  kizito.

Osobola okukyusa oba okuzimba dizayini yonna gy'oyagala kubanga ebyuma osooka kubyokya nga kyangu okwongerako oba okuggyako ebimu ekitasoboka ng'okozesa bbulooka mpozzi ng'omenya ebisenge ebimu ate nga bino bireetera ennyumba okunafuwa. 

Enzimba eno ekekkereza etya?                                                                                                                                                             Kazibwe agamba nti tebakozesa mitayimbwa ekifuula okuzimba okw'ebbeeyi.  Tebeetaaga miti okuwanirira siraabu n'embaawo. Ate bateekako enkokoto ntono okusinziira ku nzimba eya bulijjo. 

Obuwangaazi buli butya?                                                                                                                                                                         Engeri ekizimbe kyonna gye kijjudde ebyuma okuviira ddala wansi, ennyumba eno kizibu okutawaanyizibwa kibuyaga ne musisi ng'ayise. Kazibwe agamba nti ebizimbe bino bisobola okuwangaala emyaka egisoba mu 100. Enzimba eno okusinga eri China, Dubai, Egypt n'amawanga amalala agalina ebizimbe bya kalina ebisinga obuwanvu kyokka ne wano tugyetaaga naddala mu kiseera kino ng'ettaka lifuuse akataka era bangi batandise okugijjumbira. 

Omuntu asobola okusasula ekibanja mpola?                                                                                                                                   Kazibwe agamba nti okusinziira ku ngeri ekirwadde kya ssennyiga omukambwe gye kikunyizzaamu abantu n'abamu ne beekyawa, tekinologiya gwe bakozesa akuyamba okuzimba ennyumba mu bitundutundu nga bw'onoonya ssente mpolampola oba muyinza okutuuka ku nzikiriziganya n'obasasulako ne bakuzimbira ennyumba ssente endala n'ozisasula mpolampola.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts