Bino byogeddwa Dr. Yonna Baguma amyuuka akulira NARO mu Uganda bweyabadde atongoza enkola ey'okulwaanyisa enjala n'obwavu naddala mu bitundu eby'amambuka ga Uganda nga omukolo guno gwabadde ku kitebe kya NARO ettabi erye Mukono.
Dr. Baguma bweyabadde atongozza enkola eno emanyiddwa nga Development Initiative for Northern Uganda (DINU), yagambye nti singa Bannayuganda banaatandika okulunda enkoko ennansi eziva mu NARO embeera y'ebyenfuna byabwe ejja kutumbula olwo n'obukamu bwabwe busobole okubeera obulungi.
Ono yagambye nti ekika ky'enkoko NARO ky'ereese ekya ‘Elite chicken' kyakuyamba Bannayuganda okufuna ssente nga bazitunze ate n'abanaazigula bajja kuganyulwa okulya enkoko ejjudde ebiriisa.
Ono yakubiriza bannayuganda bulijjo okwettanira okulima n'okulunda ebisolo ebiba bivudde mu NARO kubanga bino biba ku mutindo ogwetaagisa ekiyamba abalunzi okuganyulwa ennyo.
Abas Kigozi akulira enkola eno ey'okulwanyisa obwavu n'enjala mu mambuka ga Uganda yagambye nti ensonga lwaki ekitongole kya NARO kyaleese enkonko zino, ky'ayagadde abantu okulunda enkoko ezikula amangu ate nga zibiika amagi mangi okusinga ku zaabulijjo
Kigozi yagambye nti obutafananako na nkoko ndala, enkoko ennansi za nkizo nti tezimala galumbibwa bulwadde ate nga zikekkereza n'emmere bw'atyo n'akubiriza bannansi okuzirunda basobola okwongera okuganyulwa okuva mu bulunzi bw'enkoko zino.
Julius Kakiiza om uku balunzi b'enkoko ennansi agamba nti enkoko zino ezireteddwa NARO zigenda kubayamba nnyo okwongera ku bungi wamu n'omutindo gw'enkoko ennansi mu ggwanga.