OLUVANNYUMA lw'ebbanga erissuka mu myezi omukaaga ng'ekisaawe ky'ennyonyi e Ntebe n'ebintu ebirala byonna nga biri ku muggalo olw'ekirwadde kya Covid-19, ekitongole ky'ennyonyi wano mu ggwanga ekya Uganda Airlines kyaddamu okukakalabya emirimu gyakyo nga October 01 omwaka guno.
Kino kyaddirira omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okugyawo omuggalo ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe kisobozese abalambuzi okuyingira mu ggwanga ekjintu ekyongera ku by'enfuna by'eggwanga.
Eggulo , aba Uganda Airlines baatongozza olugendo olulala olwa Uganda ne DR Congo era ng'omukolo gw'okutongozza olugendo luno gwayindidde ku kisaawe ky'ennyonyi ekya Kinshasa International Airport.
Nga y'abadde omugenyi omukulu ku kutongozza olugendo lw'e Uganda ne DR Congo, yagambye nti kano ke kamu ku kabonero bw'okwongera okunyweza enkolagana ya Uganda ne DR Congo.
Yayongeddeko nti kino kyakwongera n'okutumbula eby'obulambuzi mu Uganda nga kino kyakugonza n'entambula ya Bannayuganda ne bannansi ba DR Congo wamu n'abantu abalala abakolera emirimu gyabwe mu Uganda ne DR Congo.
Ye minisita ow'ensonga z'omunda mu DR Congo, yeebazizza Uganda olw'okunyweza enkolagana yaayo ne DR Congo ekigenda okuyamba amawanga gombo okwongera okukulaakulana.
Ennyonyi ya Uganda Airlines yaakugendanga mu DR Congo emirundi esatu mu wiiki nga kati Uganda Airlines ewezezza engendo 30 mu mawanga agenjawulo nga yamaze n'okugula Airbus A330 esuubira okutuuka mu gwanga ku Lwokubiri lwa wiiki eno.