Hajat Sarah Kanyini agamba nti ensonga zino yamaze okutuusa mu lukiiko lwa Baminisita (Cabinet) era lwe lulindiriddwa okusalawo.
Agamba nti gavumenti ekizudde nga emyaka 80 omukadde kw'atekeddwa okufunira ensako eya 25,000/- buli mwezi giri waggulu nnyo era bangi bakandaaliridde okuzifuna abamu ne batuuka okufa nga tebazikombyeko.
Minisita Sarah Kanyike bino abyogeredde Kayunga bw'abadde agabira abakadde 2,818 ssente 100.000/- buli omu ez'ensako gavumenti zeebawa buli mwezi nga zino za myezi ena okuli July, August, September ne October.
Agamba nti gavumenti era yakulowooza ku kwongeza ku mutemwa gwensimbi zino okuva ku 25,000/- ze bafuna kati zeeyongereko.
Minisita Kanyike yagambye nti abakadde era balina n'ekizibu eky'emwaka egiri ku ndaga muntu nga abamu bakaddeye naye endaga muntu ziraga emyaka mitono ate abamu tebazirina era ku kino bamaze okuwandiikira abakulira abakozi ku disitulikiti zonna bakwatagane n'ekitongole ki NIRA batereeze ensobi zino abakadde bafune ssente.
Akulira enteekateeka eno e Kayunga Collins Kafeero Kiggundu agamba nti okuva mu mwaka gwa 2016 lwe baatandika okugabira abakadde ssente 1,799,000,000/- zezaakagabibwa era abakadde 2,818 bebaganyuddwa.
Kafeero agambye nti ssente zino zikyusizza obulamu bw'abakadde era abaali baweddemu esuubi baatandika okwekkiririzaamu ate abamu bazikozesa okwejjanjaba, okwetuusaako ebyetaago n'abamu batandiseewo pulojekiti ezireeta ssente.
Abakadde basiimye gavumenti olwensako eno ebawebwa era bawadde obujulizi ku ngeri ssente zino gye zibayambye.