Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebyawaggulu, John Chrysestom Muyingo agumizza Bannayuganda nga bwe watali muntu agenda kutabangula mirembe mu kalulu akabindabinda.
Era asabye Bannayuganda obutasaagira mu nsonga y'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (COVID 19) kubanga kittira ddala abantu ate kati bungi.
Ku by'okuggulawo amasomero, Muyingo yagambya nti gavumenti ekola butaweera okulaba nga gwonna gaggulawo okutandika n'omwaka 2021.
Bino abyogeredde ku Lutikko e Lubaga mu mmisa ya Ssekukkulu ku Lwokuna.