Omulabirizi wa West Buganda Rt Rev Henry Katumba Tamale y'akulembeddemu okusinza kwa Ssekukkulu mu Lutikko e Kako mu Masaka. Abalina obuyinza babweyambise mu nkola etatulugunya balala nga bannyagibwako ebyabwe mu kuyiikirizibwa n'okubatulugunya.
Wadde mu byobufuzi ebiriwo asabye nti abeesimbyewo bonna baweebwe eddembe ery'ekyenkanyi okuggusa Manifesito zaabwe eri abalonzi basinziire okwo okubawa obululu okusinga okubayiribya n'amasasi ne ttiyaggaasi.
"Kati buli lwossaako amawulire ku ttivvi olabe ku bigenda mu maaso mu ggwanga tosuubirayo kirala mpozzi abadduka amasasi n'omukka ogubalagala n'okuyisibwamu ensambaggere naye tusaba omwana Yesu azaaliddwa abunduggulire Uganda emikisa gye byonna ebibadde mu 2020 bisigale omwo olwo 2021 annyumire buli Munnayuganda",bw'akaatiriza.
Atongozza ne kaweefube w'okusimbisa emmwaanyi naddala ku ttaka ly''Obulabirizi eritaliiko kirikolerwako nti kikendeeze ku misango egitatadde gye babadde bonoonerako ssente nga bawozaqanya n'abalyewaqamyako.
Agambye nti emmwaanyi era zijja kubayambako n'okufunamu ssente ezikola omulimo gwa Katonda nga tebeesigamye kuziweebwayo mu kabbo mwokka.
Ayambiddwako Sub Dean Can Gaster Nsereko n'abalala abennyamidde olwekirwadde kya COVID 19 ekigotaanyizza buli kimu mu 2020 ne basaba Katonda akwatize ku Bannassaayansi okukifunirako eddagala erinnakifufuggaza.
BpTamale akaatirizza ng'asaba buli Munnayuganda okussa mu nkola amateeka g'ekisawo.