ABAKOZI b'ekitongole ekisolooza omusolo ekya URA bali mu kusattira oluvannyuma lw'endagaano z'abamu okuggwaako ne bagaana okuzizza obuggya ate ez'abalala mukaaga ziri mu lusuubo. Abakozi be batawadde ndagaano mpya kuliko; Joseph Mwagala ow'e Mbale nga kigambibwa nti ne Robinah Nakakawa ow'e Luweero naye endagaano ye eri mu lusuubo.
Okusinziira ku biwandiiko ebyalabiddwaako Bukedde, olukiiko olufuzi olwa URA olwatudde nga November 30 omwaka guno, lwasazeewo obutazza buggya endagaano ya Mwagala Mugabi era akulira ekitongole kya URA John Musinguzi n'amuwandiikira ebbaluwa nga December 1 omwaka guno ng'amutegeeza nga bwe bagenda okumusasula ssente ze zonna aweeyo ofiisi ku lunaku olusembayo.
Kino kitadde abakungu abalala abalina endagaano eziggwaako ku ntandikwa y'omwaka ogujja ku bunkenke. Okusinziira ku biwandiiko ebyavudde mu URA, waliwo abakungu musanvu abali mu kutya nti endagaano zaabwe bandigaana okuzizza obuggya. Ekimu ku biwandiiko ekyassiddwaako omukono akulira URA, John R Musinguzi kiraze nti endagaano ezitazziddwa buggya bateekwa okuwaayo ofiisi ku lunaku olusembayo olw'endagaano zaabwe enkadde.
Omwogezi wa URA, Vincent Sseruma yategeezezza nti endagaano z'abantu bangi zizze ziggwaako ne zizzibwa obuggya ate endala ne batazizza buggya nti kino ekiriwo kireme kwewanisa bantu mitima. Kigambibwa nti embeera eriwo etiisizza abamu ku bakozi ne batuuka n'okusuulawo emirimu ng'endagaano zaabwe tezinnaba kuggwaako.