OMUSUMBA w'essazza ly'e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa akubirizza abantu mu kitundu kino okujjumbira okulonda kubanga y'engeri yokka gye bagenda okusalawo ebiseera by'eggwanga lino eby'omu maaso.
"Mbasaba buli muntu atwale obuvunaanyizibwa okukunga banne era abalwadde n'abakadde nabo mufube okulaba nga mubayamba okukuba akalulu," bwe yakkaatirizza. Omusumba Kaggwa yasinzidde Kirumba mu kibuga Masaka ku mukolo abafumbo Mpaka Mbagatuzinde ne Noeline Namaganda nga bajaguza emyaka 25 mu bafumbo obutukuvu.
Ono yakyukidde abafumbo b'agamba nti ennaku zino Katonda bamusudde bbali nti ekivuddeko okusanga ebizibu ebingi. Yeebazizza Mpaka omu ku balambuzi b'amasomero mu disitulikiti y'e Kalungu okubeera eky'okulabirako ekirungi.