Abagoba ba takisi mu Kampala bakubiriziddwa okweyigiriza okutereka ssente balekeraawo okuzisasaanya mu bintu ebitabayamba omuli n'eky'okusondera bannaabwe embaga ezitaggwa.
Bino byogeddwa Minisita omubeezi owebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo bw'abadde asisinkanye abagoba ba takisi mu Kampala n'agamba nti kyennyamiza okulaba ng'abantu balemererwa okutereka ssente okubaako ekintu ekyawamu kye bagula kyokka ne badda mu kusonda ssente z'okukola embaga za mikwano gyabwe omuli n'okulya buli kintu ekibasala mu maaso ekintu ky'agambye nti balina okukikyusaamu.
Agambye nti obudde bwe bamala nga banyumya ku byobufuzi balina kubukozesa nga basala amagezi ku ngeri gye bayinza okwejja mu lunnabe w'obwavu, kijja kubayambako okugenda mu maaso olwo bafuuke abantu abeesiimisa.
Kasolo bano abalaze ebirungi ebiri mukuterekera awamu, nga singa bakikola , mu bbanga ttono nnyo kumpi buli muntu aba asobola okugula takisi eyiye.