AKULIRA abasawo ba poliisi mu ggwanga, Dr. Moses Byaruhanga ategeezezza nga bwe bamaze okuwaayo olukalala lw'abantu abaakubwa amasasi mu kwekalakaasa kwa Bobi Wine eri amaka g'Obwapulezinti, okuli abaafa n'abo abaagenda n'ebisago abalina okuliyirirwa.
"Ssebo Meeya Balimwezo ono omukyala ate yafudde ddi? Era baamukubira wa amasasi? Kyokka ekinnumye mbadde naakawaayo olukalala lw'amannya g'abantu abagenda okuliyirirwa," Dr. Byaruhanga bwe yategeezezza.
Bino Dr. Byaruhanga yabitegeezezza Meeya w'e Nakawa Balimwezo eyabadde agenze okuyamba abaffamire ya Zalika Kikabbula eyakubwa amasasi e Kireka ku lunaku lwe baakwata Bobi Wine agaamukwata mu lubuto ne galuyuza ne gakwata n'enkizi ne bamuddusa mu ddwaaliro e Naguru gye baamuggya okumutwala e Mulago gye yafiiridde.
Abooluganda lwa Kikabbula baasobeddwa e Mulago abasawo bwe baagaanye okubawa omulambo okutuusa nga bazzeeyo ku poliisi y'e Kireka nayo eyasoose okugaana okuggulawo omusango okutuusa lwe baasindise omuserikale waabwe ku Lwokusatu e Mulago okukakasa nti kituufu omukyala ono yafudde masasi.
Wakati mu kusoberwa, muwala w'omugenzi Halima Nabirye yagambye nti baasazeewo ne basula wabweru w'eggwanika e Mulago okutuusa obudde okukya.
Nabirye yategeezezza nti maama waabwe yakomawo ku Lwokusatu okuva mu katale nga ttiyaggaasi akaaye kwe kugenda okunaaba. Yali avaayo n'asanga nga muto waabwe afulumye wabweru okumpi n'ekiyigo era yali amukutte ku mukono ayingira mu nnyumba, aba LDU ne bamukuba amasasi agaamuviiriddeko okufa.
Balimwezo yasabye Dr. Byaruhanga okuyamba ku ffamire eno okulaba ng'abateeka ku lukalala lw'abantu ab'okuliyirirwa kubanga baamuttidde bwereere era naye n'akkiriza.
Yasabye abaffamire densite zaabwe n'aggyako ebibakwatako ne bawaayo n'ebikwata ku mugenzi.
Baamuziise ku biggya bya bajjajja be e Nakisenyi mu Luuka disitulikiti. Yalese
abaana bataano.
Thursday, December 10, 2020
Olukalala lw'abaakubwa amasasi abookusasula luwedde okukolebwa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
Hima Cement Limited has agreed to surrender back over 30 acres of land it irregularly acquired in Mwello parish in Mulanda sub-county in Tor...